OBULABIRIZI bwa Busoga butegese emisinde mubunabyalo (marathon) okusonderamu ssente z'okumaliriza ennyumba y'omulabirizi ne pulojekiti endala z'okwekulaakulanya.
Emisinde gyakubaawo ku Lwomukaaga nga December 5 okuva ku Lutikko e Bugembe ku ssaawa 12:30 ez'enkya nga baakudduka kiromita emu, 5 ne 10.
Omulabirizi wa Busoga, Rt. Rev. Polof. Grace Lubaale, yagambye nti emijoozi eginaddukirwamu gya 30,000/- ne 40,000/-.