EKISAAKATE ky’ebyemizannyo ekya Future Stars Multi-Sport Residential Holiday Training Camp eky'omulundi ogw'okubiri kyatongozeddwa ku Gayaza Junior School.

Okutongoza ekisaakaate kya Future stars
Omukolo gwetabiddwako abakungu n’abatendesi abaakulembeddwamu Ruth Meeme amyuka omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ey'omuzannyo gw'okubaka eya She Cranes wamu ne kapiteeni wa She Cranes, Racheal Nanyonga era nga be bagenda okuvunaanyizbwa ku kutendeka omuzannyo gw’okubaka.
Ku mulundi guno, abaana abagenda okwetaba mu kisaakate ky’omwaka guno eky’ebyemizannyo, baakufuna omukisa okubangula mu bukoddyo obwenjawulo obw’omuzannyo gw’Abamerika ogwa Baseball ne Softball.

Abamu ku baana abagenda okwetaba mu kampu nga bali ku mukolo gw'okutongoza