Bya Gerald Kikulwe
ABAVUZI b’emmotoka z’empaka beeswata kweriisa nfuufu mu mpaka za Kabalega Hoima Rally oluvannyuma lw’emyezi ena (4) ng’ebyuma babiterese olw’embeera ya Covid-19 eyuguumizza ensi yonna.
Baakoma kwetaba mu mpaka za UMC Kassanda Sugarcane Rally mu June 2021, wabula ekibiina ekifuga omuzannyo gw’emmotoka z’empaka mu ggwanga ekya ‘Federation of Motorsport Uganda (FMU) olwalangirdde eza Kabalega, mu wiiki emu abavuzi 17 be bamaze okukakasibwa okwetaba mu mpaka zino.
Bano okuli; Dr. Godfrey Nsereko ne Raymond Munyigwa, Oscar Ntambi ne Asuman Muhammed, Musa Kabega ne Rogers Sirwomu, Ronald Ssebuguzi ne Anthony Mugambwa, Issa Nyanzi ne Richard Ssengendo, Peter Businge ne Hakim Mawanda, Rajiv Ruperallia ne Enock Olinga, Samuel Watendwa.
Abalala ye Steven Bunnya, Mustafa Mukasa ne Emmanuel James Emaru, Mansour Sanya ne Abdal Nyombi, Muzamir Watorya Mwami ne Abdul Karim Kakooza, Haji Amir Kavuma ne Mustafa Kanakulya, Brian Kabenge Gitta ne Nasser Kirunda, Abdul Kateete ne Rahma Muhammed, Faisal Kayiira ne Mariam Nambassa, Fred Kitaka Busuulwa ne Joseph Bongole, Dr.Henry Maseruka ne Denis Kibenda.
Empaka zino zaakuvugibwa wakati wa October 22 ne 23, 2021. Justus Mungoma pulezidenti wa UMOSPO kiraabu etegese empaka zino ate nga y’akoze ku makubo emmotoka mwe zigenda okuyita agamba nti zaakutolontoka obuwanvu bwa kkiromita 250, nga 160 ze zivuganyizibwako okwawukana ku 80.
“Okwewandiisa tukuggalawo nga October 15, 2021, wabula abavuzi bonna tubasabye okwegemesa Covid-19 ng’empaka tezinatuuka kituwe enteekateeka ennungi,” Mungoma bwe yategeezezza.
Agattako nti omulundi guno empaka zino tezigenda kubaamu bawagizi era n’akanyomero ak’emmotoka okufubutukira mu busaawe tekajja kubeeramu okwewala okukung’aanya abantu.