EKIBIINA ekifuga omuzannyo gwa mmotoka z’empaka ne ddigi mu ggwanga ekya FMU, kikalambidde okuwaayo engule y’omuwanguzi w’engule ya NRC omwaka guno lw’abamu ku bavuzi kulaga butali bumativu mu ngaba y’obubonero.
Ku mukolo ogw’okugabirako ebirabo n’engule z’abawanguzi ezibadde zimaze emyaka esatu nga tezigabibwa okuva COVID-19 bwe yabalukawo mu nsi yonna, ku wiikendi FMU yagukoledde ku wooteeri ya Kabira County Club e Bukoto era abawanguzi okuva sizoni ya 2019, 2020/2021 ne 2022 ne bakwasibwa ebirabo.
Wabula bwe kyatuuse ku kyampiyoni wa NRC omwaka guno 2022, wakati wa Ponsiano Lwakataka, Jonas Kansiime ne Byron Rugomoka ababadde bavuganya, bano baabagambye basooke balinde okutuusa ng’akakiiko ky’ebyekikugu kugonjodde esonga.
Kino kiddiridde wiiki ewedde Lwakataka okuteekayo okwemulugunya mu buwandiike ng’agamba nti Kansiime ne Rugomoka baali tebalina kuweebwa bubonero mu mpaka ez’omulundi ogwomukaaga omwaka guno bwe baagaana okujja ku katuuti FMU n’abategesi bwe baali bagaba eby’ava mu mpaka ezo.
Lwakataka agamba nti kino kimenya mateeka agafuga omuzannyo era akakiiko kalina okutunula mu nsonga eno nga tekanalangirira kyampiyoni.
Mu mbeera y’emu ne Kansiime yawandiise nga yeemulugunya nti engeri emmotoka ye gy’ebadde eweebwamu obubonero okusinziira ku kika ky’avuga, tebadde ya bwenkanya.
Reynold Kibira omumyuka wa prezidenti wa FMU ku nsonga z’okutegeka empaka yasinzidde ku mukolo guno n’asaba ababadde beesunga ekirabo kya kyampiyoni w’omwaka guno ku ngule ya NRC okulindako okutuusa wiiki ejja ng’akakiiko katunudde mu nsonga ezo waggulu.
Rugomoka y’abadde asuubirwa okutwala engule ya NRC oluvannyuma lw’okuwangula empaka ezisembyeyo eza Kigezi Boona Rukungiri Rally, Lwakataka teyazivuze n’asubwa obubonero ate Kansiime yavuze n’amalira mu kyokubiri.