Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Fort Portal

Ponsiano Lwakataka yaakulembedde ku ngule y’eggwanga n’obubonero 262 ng’addiriddwa Jas Mangat (140), Yassin Nasser (98) n’abalala. Abavuzi 13 be baakewandiisa, ng’enkalala ziggalwawo Lwakuna (July, 2022).

Emmotoka ya Ibrahim Lubega 'Pasuwa' lwe baasemba okuvugira e Fort
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#FMU #UMC Fort Rally #Lwakataka

UMC Fortportal Tourism 2022

BANNAMUZANNYO gwa mmotoka z’empaka baatandise dda okwebuga nga beetegekera empaka laawundi eyookuna ku kalenda y’omwaka guno 2022.

Kiddiridde eza Uganda Motor Club Fort Portal Tourism Rally okutongozebwa ku Racer’s café Restaurant e Bukoto. Zino zaakuvugibwa ku wiikendi ya July 8 ne 10, 2022.

Paul Balitema Kabali (ku kkono), Desire Derekford Gumisa wakati ne Reynold Kibira

Paul Balitema Kabali (ku kkono), Desire Derekford Gumisa wakati ne Reynold Kibira

Paul Balitema Kabali akuliddemu okutegeka amakubo era pulezidenti wa UMC yakakasizza nga mmotoka bwe zigenda okutolontoka ku buwanvu bwa kiromita 194 nga ku zino 119.5 ze zivuganyizibwako.

“Tulina ebitundu bya mirundi ena (4) empaka mwe zigenda okwetoloolera. Bino kuliko; Amabeere Ga Nyinamwiru (8.99km), Karim Hirji (9.94km), Algogo (25.6km) n’akasaawe ka Kyakaigo (5.52km),” Kabali bwe yategeezezza.

Agattako nti eby’okwerinda bikwatiddwa bulungi era abawagizi tebeekengera bajje mu bungi.

Lwakataka (ku ddyo)