NG’EBULA ennaku 13 zokka empaka z’omulundi ogwokusatu ku kalenda y’emmotoka z’empaka eza ‘Kabalega Rally’ okuvugibwa mu bitundu by’e Hoima, kiraabu ya UMOSPOC erabudde FMU obutakozesa linnya lya ‘Kabalega’ mu kulanga empaka zino nga tebafunye lukusa.
Okuva empaka z’e Hoima bwe zaatandika okuvugibwa mu 2016, kiraabu ya United Motorsports Club (UMOSPOC) be babadde bazitegeka wansi w’erinnya lya ‘UMOSPOC Kabalega Rally’. Babadde baakazitegeka sizoni 5 ez’omuddiring’anwa (2016, 2017, 2018, 2019 ne 2021).
Wabula omwaka oguwedde UMOSPOC n’abakulembeze baayo baakaligibwa okumala emyezi 12 nga tebeetaba mu muzannyo guno lwa kutegeka mpaka za Africa Kwetu Fuel Economy tour 2021 ezitaali mu mateeka.
Irene Lila Mayanja
Okusinziira ku Irene Leila Mayanja ssaabawandiisi w’ekibiina ekifuga omuzannyo guno ekya Federation of Motorsport Clubs of Uganda (FMU), agamba nti bano ekibonerezo kyabwe kyaweddeko naye bakyalina obukwakkulizo bwe balina okutuukiriza okusobola okubakkiriza okuddamu okutegeka empaka ez’engeri yonna.
Wano FMU we yasaliddewo empaka za Kabalega Hoima Rally okuzikwasa Central Motor Club (CMC) okuzitegeka. Wabula ekitabudde UMOSPOC be bategesi aba CMC okusigala nga bakozesa erinnya lya ‘Kabalega Hoima Rally’ nga tebafunye lukusa okuva eri bbo (UMOSPOC) abaalitandikawo mu 2015.
Okusinziira ku bbaluwa eyateereddwaako omukono Johnson Were pulezidenti wa kiraabu ya UMOSPOC, yasabye abategesi beesonyiwe okukozesa erinnya ‘Kabalega’ okwewala ensonga okuzongerayo.
Saeed Kakeeto amyuka pulezidenti wa kiraabu ya CMC yakakasizza ng’ebbaluwa okuva eri UMOSPOC bwe yatuuse gye bali, “ensonga twazituusizza eri abakwatibwako mu Bwakabaka bwa Bunyoro abavunaanyizibwa ku linnya ‘Kabalega’ era ne tufuna oludda lwabwe, kati tusuubira okusisinkana abakulembeze ba UMOSPOC wiiki ejja okulaba nga tutuuka ku nzikiriziganya,” Kakeeto bwe yategeezezza.
Empaka za Kabalega Hoima rally zaakuvugibwa ku wiikendi ya May 9 ne 11, mmotoka zaakutolontoka siteegi 5 ez’enjawulo nga zikola omugatte gwa kiromitta 170 nga 115 ze zivuganyizibwako.