Abazannyi ba Cranes ya CHAN balwanira nnamba

Micho agamba nti buli muzannyi yamuwadde omukisa era waakulonda ttiimu kabiriirti era Bannayuganda balinde ttiimu gy’anaayungula.   

Abazannyi ba Cranes ya CHAN nga basanyukira obuwanguzi.
By Hussein Bukenya
Journalists @New Vision
#CHAN #Cranes #Micho #Algeria #DR Congo #Cameroon

Lwamukaaga mu za CHAN
DR Congo – Cranes,        1:00 

Ebula ennaku 3, Cranes eyingire ensiike mu mpaka za CHAN kyokka omutindo gw'eraze mu gy'okwegezaamu erina okugwongerako bw'eba yaakuwa Bannayunganda ssanyu.
Emipiira 3 gyonna gy’ezannye ekoze maliri.  Yalemaganye ne Cameroon (2-2), Mali (0-0) ne Sudan (1-1). Empaka zitandika Lwakutaano mu kibuga Algiers ekya Algeria olwo Uganda eggulewo ku Lwomukaaga ne DR Congo mu kibinja B mw'eri ne DR Congo, Senegal ssaako Ivory Coast.  
Omutindo guno gutiisa wadde ng'omutendesi Sredojevic Micho agamba nti Bannayuganda tebalina kweraliikirira kuba emipiira gino abadde aginoonyezaamu ttiimu esookamu era yagifunye. Mu nkambi, waliyo abazannyi 25, Micho kw’alina okulonda 11 abatandika. Bw'ogendera ku ffoomu n'obumanyirivu, bano be basuubirwa okutandika. 

Baggoolokipa; Nafian Alionzi, Jack Komakech, Joel Mutakubwa. Alionzi abasingako kuba ttiimu agiruddeko. Komakech ali mu Vipers kyokka takwata kuba baggoolokipa abaliwo okuli; Fabian Mutombola ne Alfred Mukendereza bamusinga. Mutakubwa abadde ayitibwa, ffoomu yakka era akyalemeddwa okusituka okutuuka okumwesigamako.

Mu nnamba 2; Ashraf Mandela ne James Begisa be baliwo wabula Mandela alina enkizo kuba omutindo gwe mulungi mu Vipers. 

Mu nnamba 3; Derrick Ndahiro ne Isa Mubiru be bavuganya. Mu bumanyirivu, Ndahiro asinga kyokka Mubiru ali ku ffoomu eyayambye Vipers n’okugenda mu bibinja bya CAF Champions League era tekijja kwewuunyisa nga Micho gw'asoosezzaamu. 
 
Mu kisenge wakati; Gift Fred ne Kenneth Ssemakula (Villa), Hillary Mukundane (Vipers), Geoffrey Wasswa (KCCA). Fred ne Mukundane be baazannye ku Mali ne batabateeba ate Wasswa n’akubawo ne Mukundane ku gwa Cameroon ne guggwa (1-1). Ku gwa Sudan, Wasswa ne Fred Gift baazannya ne gulemagana (2-2). Bonna Mukundane abasinga era ennamba ye weeri. Ayinza okwegattibwako Wasswa olw’omutindo gwe mu KCCA kuba azannya buli mupiira. 
 
Mu makkati; Abawuwuttanyi abayamba ku bazibizi bakulemberwa Marvin Youngman, Siraje Sentamu. Bombi ba Vipers kyokka Sentamu wadde tabadde nnyo na mukisa ku Cranes, ali ku ffoomu era mu ttiimu, ye kwe batandikira sso nga Youngman wadde yazannyirako Cranes enkulu, omutindo gwe gukyagaanyi okweyongerako.

 Abawuwuttannyi abaliikiriza abateebi; Bright Anukani, Karim Watambala, Moses Waiswa, Frank Ssebuufu ne Rogers Mato be balwanira ennamba. Watambala ne Waiswa ffoomu yaabwe nnungi ate balina obumanyirivu. Waiswa yazannyirako Cranes enkulu ate Watambala yayambako ttiimu eno okuwangula CECAFA ya 2019.

Micho atendeka Cranes.

Micho atendeka Cranes.

 Ku kyoto; Nelson Ssenkatuka, Travis Mutyaba, Moses Aliro, Ibrahim Orit, Rogers Mato, Milton Karisa, Najib Yiga, Titus Ssematimba, Ibrahim Orit bonna balwanira nnamba. Karisa ye kapiteeni wa ttiimu era asuubirwa okutandika kuba omutindo gwe mulungi ne mu Vipers.

Orit ne Mutyaba nabo balungi kyokka mu kiraabu zaabwe babadde tebakola bulungi nga n’ebiseera ebimu tebatandika. Aliro ne Ssematimba be batambulirwako Wakiso Giants era bagitadde mu kifo ekirungi. Mu Vipers, Yiga abadde yafuna obuvune nga tatera kuzannya. Senkatuka aludde ku mupiira kyokka omutindo gwe gukyagaanyi era kizibu okumuyimirirako.

Mato, mu KCCA bamutandisa buli mupiira era ggoolo azikuba kyokka Karisa, Orit ne Mutyaba balina enkizo ku kyoto. Micho agamba nti buli muzannyi yamuwadde omukisa era waakulonda ttiimu kabiriirti era Bannayuganda balinde ttiimu gy’anaayungula.