Yunivasite ya Gavt. etandise okubangula abasomesa

YUNIVASITE ya gavumenti ey’abasomesa eya Uganda National Institute for TeacherEducation (UNITE) etandise okubangula abayizi mu butongole okwetoolola eggwanga oluvannyuma lw’ebbanga lya myaka ebiri ng’emirimu gy’okubangula abasomesa giyimiriddemu.

Yunivasite ya Gavt. etandise okubangula abasomesa
NewVision Reporter
@NewVision

YUNIVASITE ya gavumenti ey’abasomesa eya Uganda National Institute for Teacher
Education (UNITE) etandise okubangula abayizi mu butongole okwetoolola eggwanga oluvannyuma lw’ebbanga lya myaka ebiri ng’emirimu gy’okubangula abasomesa giyimiriddemu.
Yunivasite eno egenda kubangula abasomesa ku ddaala lya diguli mu koosi z’obusomesa bwa nnasale, pulayimale ne siniya. Zin mu kusooka gaali matendekero ga basomesa nga gabangula okuviira ddala ku ddaala lya satifikeeti wabula oluvannyuma minisitule
y’ebyenjigiriza yasalawo buli musomesa alina okubeera ne diguli okuviira ddala ku musomesa wa nnasale.Amatendekero gano gabadde gaatereezebwa okufuuka
yunivasite.
Mu myaka 2 nga amatabi ga   yunivasite kati ey’abasomesa tegakola, minisitule yali yeetegerezza era n’ekola ennongoosereza okulaba ng’amatabi gano gonna
gali ku mutindo era nga galina ebyetaagisa ebigafuula yunivasite Yunivasite eno yagguddewo mu butongole mu matabi gaayo ag’enjawulo wiiki ewedde era abayizi baatandise okujja nga n’emisomo gitambula bukwakku.
Mu matabi gonna awamu, batandise n’abayizi abasoba mu 1,000 era esuubirwa okuyingiza abayizi abalala mu August w’omwaka guno. Okwawukana ku yunivasite ez’enjawulo eziriwo, eno yaakusomesa basomesa bokka era nga yaakuyamba bonna ababadde tebannafuna diguli okuddayo basome bazifune. Kino kyakolebwa oluvannyuma lwa gavumenti okuleeta ebbago erirung’amya abasomesa n’obusomesa mu mwaka gwa 2019 eryasalawo nti buli musomesa
alina okubeera ne diguli. Abayizi ba yunivasite eno bajja kusomera mu matabi 6 agali mu bitundu ebyenjawulo okwetoolola eggwanga okuli ey’e Kira mu Wakiso, Kaliro, Gulu, Kabale, Mubende ne Arua .
Vice Chancellor wa Kaliro UNITE Campus, Pulof. Betty Ezati yagambye nti yunivasite, eno etandise okusomesa abasomesa abalina satifikeeti okufuna dipulooma, aba dipulooma okufuna diguli nga ne gye bujja baakuyingiza abayizi ku ddaala lya masters

Login to begin your journey to our premium content