OBWAKABAKA bwa Buganda busabuukuludde abawala 54 abagenda okuvuganya mu Mpaka z'Obwannalulungi w'ebyobulambuzi mu Buganda 2025.
Omukolo guno gubadde ku kitebe ky'ekitongole ky'ebyobulambuzi mu Buganda ekisangibwa mu mbuga ya Butikkiro mu maaso g'Olubiri e Mmengo
Empaka zino ziri wansi w'Omulamwa ogugamba nti " Nze buwangwa bwange".
Minisita w'obuwangwa Dr. Wamala ng'ali mu kifananyi ne Bannalulungi
Minisita w'ebyobuwangwa, ennono n'obulambuzi, Dr. Anthony Wamala asinzidde wano n'asaba abazadde bulijjo okuwagira abaana baabwe okutumbula ebitone byaabwe.
Dr. Wamala agambye nti eby'obulambuzi Kati Obwakabaka bwebutunulidde okutumbula enkulakulana mu bantu baabwo.
Abawala bano Leero bayingidde enkambi era Akulira Olukiiko oluteekateeka Empaka zino, Fazira Nassolo ategezezza nti baakubeerayo okutuusa June 13,2025 lwebanajja ku wooteeri Africana mu Kampala ku Mpaka z'akamalirizo
Ye Akulira emirimu mu kitongole ki Buganda Heritage & Tourism Board, Najib Nsubuga ategezezza ng'omuwanguzi bwagenda okuweebwa emmotoka Kapyata.
Bannalulungi b'omwaka oguwedde nga boogera
Abawala bana abanasinga bagenda kufuna Olugendo lw'okulinya Ennyonyi okugenda e Bungereza ate n'ebirabo ebirala ntoko ebitereddwa mu Mpaka zino.
Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika mu Buganda, Augustine Kizito Mutumba Namwama yeebazizza enteekateeka eno n'aggyogerako ng'egenda okuyamba okutumbula saako okuyigiriza abawala bano wamu n'abantu abalala ebikwata ku by'Obuwangwa.
Empaka z'Omwaka oguwedde zaawangulwa Kisa Namale nga wa ssaza ly'e Kyadondo.