Abali b’enguzi ab’amaanyi mu ggwanga bakyagenda mu maaso n’okwepena omukono omuwanvu ogw’amateeka, nga buli abalwanyisa enguzi lwe batega ekitimba, kikwasa abali b’enguzi abatono, Bannayuganda be baakazaako ‘bumukene’, olwo ebyennyanja ebinene ne biyinaayina.
Embeera eno ezibuwazizza okumalawo obulyake mu ggwanga, olw’ababbi abakulu okwepen eddobo ly’abakwasisa amateeka, ekibawa omwagaanya okusigala nga bayiiya engeri y’okubbamu ssente buli mwaka, olw’obukodyo bwe bakozesa mu kunyaga. Ssente ezibbibwa, ze zirina okukozesebwa okutuusa obuweereza ku bantu okugeza; okuzimba amalwaliro, enguudo, amasomero, emyala, obutale n’ebirala, nga ziba zikung’aanyiziddwa mu Bannayuganda, okuyita mu misolo.
Okusinziira ku kitongole ky’ensi yonna ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya, Transparency
Internantional, Uganda ekola bubi mu kulwanyisa obuli bw’enguzi ng’ekwata ekifo kya
141 ku mawanga 180, era enguzi ekyafung’amye mu bitongole bya Gavumenti ebivunaanyizibwa okuweereza abantu.
Okusinziira ku kunoonyereza kwa ofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti, Uganda buli mwaka efiirwa ssente eziri mu buwumbi 10,000 okuyita mu bulabbayi, obukenuzi,
obubbi n’obulyake.
Wadde nga Gavumenti etaddemu amaanyi okulwanyisa enguzi, ababbi abanene bakyali kizibu kinene olw’amagezi ge bakozesa nga babba ne bataleka mukululo w’osobola kubakwatira, ate nga kkooti zikolera ku bujulizi.
LWAKI ABABBI ABANENE BASIMATTUKA EDDOBO?
Akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekirwanyisa enguzi ekya, Anti-Corruption Coalition Uganda, Marlon Agaba, agamba nti ababbi abanene basensedde ebifo ebikola okusalawo mu ggwanga. Embeera eno ezibuwazza okubalwanyisa kuba be bandibadde
abasaale mu kaweefube ono, kyokka ate be beenyigira mu bulyake. Okumanya embeera eno nzibu, Agaba agamba nti omuntu bw’avaayo okulwanyisa ababbi, abeera ng’alwanyisa Gavumenti, olw’amaanyi abali b’enguzi ge balina mu bifo ebisalawo.
Ayongerako nti waaliwo ekyaleetebwa, nga kyagala ab’oluganda lw’omukozi wa Gavumenti omuli; abakyala n’abaana nabo balangirire ebyobugagga byabwe eri Kaliisoliiso wa Gavumenti, kyokka tekyayitamu, kuba abandikiyisizza ate bwe banyagulula ebyobugagga, babissa mu mannya g’abaana baabwe okulemesa ababanoonyerezaako.
Olw’okuba ababbi abanene baba ne ssente nnyingi ze bafuna mu bulyake, kibanguyira okugulirira poliisi enoonyereza ku buzzi bw’emisango n’ereka ebbali obujulizi obubaluma okukkakkana nga kkooti zibejjeerezza.
Agaba agamba nti eno y’ensonga lwaki obubbi obubadde muggwanga ne buwuniikiriza, okugeza ababba eza CHOGM, abaagula ennyonyi enfu, ababba ezaali zirina okuzimba ddaamu n’abalala, bonna mu misango gyabwe, waabulawo abanene abaafuna ebibonerezo.
Akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekirondoola ssente ez’ebyokulonda n’okulwanyisa enguzi, ekya Alliance for Finance Monitoring, Henry Muguzi agamba
nti ababbi abanene, be bannabyabufuzi ab’amaanyi omuli baminisita, bassentebe ba disitulikiti, babaka ba Palamenti, abawandiisi b’enkalakkalira mu minisitule, bakaminsona n’abalala.
Bano kizibu okubakwata n’okubasingisa ogw’obuli bw’enguzi, ate nga be babbi aba waggulu. Kin Muguzi agamba nti kiva ku kuba ng’abakulu bano si be bakola ku
mpapula z’okubba, balagira bulagiziabakozi okugeza ababala ebitabo olwo omukugu ali wansi n’anoonya pulojekiti kw’abba.
Aba wansi bwe balaba omukulu atutte eddene, nabo nga beegabanya ezisigaddewo, kye kiva kiba ekyangu okukwata ‘bumukene’ buno okusinga eyabusindise, kuba bwe bussa emikono ku mpapula z’omunyagoMuguzi
agamba nti okumanya ababbi abanene bayaaye,
tebakkiriza kubateera ssente ezibbiddwa ku akawunti.
Ebisawo balina kubibatwalira waka, oba mu bifo ebyekusifu amatumbibudde, waleme
kubaawo abalaba.
Abamu naddala ababba ennyingi, okugeza obunyaziobwali mu Bbanka Enkulu omwaka oguwedde, baakolagana n’ababbi abalala mu mawanga g’ebweru, gye baasindika ssente ku akawunti ez’ekifere, olwo ababbi baayo ne baziggyayo ne balinda omubbi omunene
ali wano okuzinonayo.
Bw’owulira omukungu nti yagenze bweru olowooza yagenze kuyiiyiza Bannayuganda,
kumbe anonye munyago gwe! Mu bubbi obw’ekika kino,uguzi annyonnyola nti abanene tosobola kubalabako singa ddiiru tegenda bulungi, era poliisi bw’enoonyereza, kwata abali wansi olwo mukama waabwe n’alya butaala nga bw’avumirira n’obuli bw’enguzi ku ttivvi!
Ye omulamuzi eyawummula era eyakulirako kkooti ewozesa emisango gy’obulyake, John Bosco Katutsi yagambye nti ekiyigula abanene okubba nga tebakwatibwako, kwe kuba nga waggulu waabwe waliyo ababawambaatira.
Mu bbanga lye yamala ng’akulira kkooti eno, agamba nti yalaba nga waliwo abali b’enguzi abavunaanibwa n’amaanyi gonnakyokka ate abalala nga babaweeweeta, kyokka nga bali ku misango gye gimu. Ekirala abali b’enguzi ab’amaanyi boogera ennimi nnyingi, omuli n’olwa ssente, olubayamba okuvvuunuka emisango eminene.
KALIISOLIISO KY’AGAMBA
Kaliisoliiso wa Gavumenti, Beti Kamya yagambye nti ababbi abanene bazannya bulungi emizannyo gyabwe ne bataleka bujulizi,ekizibuwaliza ofiisi ye okubavunaana
n’okubasesemya ssente ze babbye olw’obutaba na bujulizi. Enkola ey’okwekenneenya enneeyis y’abakungu bano, (Life Style Audit) Kamya agamba nti ye yokka esobola okuyamba okubakwata kyokka ng’abantu ba bulijjo beetaaga okuba wakati mu kuloopa abakungu bano kuba ebintu eby’ebbeeyi ebitagya mu misaala gyabwe babikolera
mu bantu era baba bamanyi nnannyinibyo omutuufu.
Kamya ayongerako nti okuva bwe baatandika okukunga abantu okwenyigira mu kulondoola enneeyisa y’abakozi ba Gavumenti, waliwo ebintu bye basuuzizza
ababbi ng’abamu babiwaayo mu ddembe, nga tebaagala kuswazibwa, oluvannyuma lw’okubulwa obujulizi obukakasa nti baabikola mu ssente zaabwe.
Okusinziira ku lipooti ya Kaliisoliiso ey’omwaka 2022-23, ssente 14,893,969,526/-
(obuwumbi 14) ze zaanunulwa okuva ku bali b’enguzi nga ku zino, 6,193,969,516/-
zaasasulwa mu mpeke, ate 8,700,000,000/-mu bintu ebikalu abakenuzi bye baagula mu ssente z’omuwi w’omusolo. Mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde 2023-24, ofiisi
ya Kaliisoliiso yanunula obuwumbi 5 mu mpeke, n’ebyobugagga ebiweza obuwumbi
8, abakenuzi bye baali baagula mu ssente enzibe. Ekimu ku bireese obuwanguzi buno, Kamya agamba nti be bantu ba bulijjo okufuuka bakaliisoliiso abasookerwako, abababagulizaako naddala ku byobugagga by’abakozi ba Gavumenti bye balina, nga
tebikwatagana na misaala gyabwe.
Kamya ayongerako nti okulondoola enneeyisa y’abakozi ba Gavumenti eyambye nnyo, kuba wadde tewaba bujulizi bulaga nti omukungu yatadde omukono ku mpapula n’abba ssente, bwe bamusanga azimba ekizimbe eky’amaanyi ne bamubuuza gye yaggye ssente
nga tasobola kunnyonnyolayo,
kibanguyira okumunyweza, era
bangi bafundikidde ebyobugagga
bino babisesemye.
KIKI EKIRINA OKUKOLEBWA?
Agaba agamba nti Gavumenti
erina okusitukiramu yeetundulemu
abantu abatambulirwako enguzi
awatali kuttira muntu yenna ku liiso.
Amawanga agalwanyisizza enguzi
okugeza Botswana, Rwanda, Mauritius
n’awalala, eby’okuzibira abanene
mu Gavumenti baabivaako ne
basiba buli mubbi, kwe kufuna ku
kalembereza nga Uganda ky’erina
okukola.
Abalonzi nabo yagambye nti
bateekwa okulaga amaanyi gaabwe
nga bayita mu kalulu, baleme
kulonda abo abasongeddwaamu
ennwe mu mivuyo gy’okubba ssente
zaabwe. Buli lwe balonda abantu
ab’ekika kino, kibongera amaanyi
okubba.
Ye Muguzi agamba nti ofiisi ya
Kaliisoliiso wa Gavumenti erina
okuweebwa amaanyi erondoole
enneeyisa y’abakozi ba Gavumenti
(Lifestyle Audit), nga lino ly’ekkubo
lyokka ery’okukwatamu ababbi abanene,
kuba bw’obateegera mu ofiisi,
tosobola kubafuna.
Engaba y’emirimu gya Gavumenti
n’ebifo ebyobufuzi nayo etunulwemu,
biweebwenga abantu ab’ensa,
abatajja kwegaggawaza.
Gavumenti erina okussa ssente
eziwera mu kusomesa abantu ku
bulabe bw’enguzi, ekiseera kituuke
ng’enguzi abantu ba bulijjo
ebawunyira ziizi, bo basobola
bulungi okwesamba ababbi abo
n’okubakolokota bazzeeyo ebibbe.
Ekiseera kirina okutuuka ng’omubbi
bw’ajja ku mukolo abantu bamumma
akatebe w’atuula, nga bwe kiri
mu mawanga g’abazungu.
Poliisi n’ebitongole ebirwanyisa
enguzi, Gavumenti erina okubiwa
ssente ezimala okusobola okugula
tekinologiya ow’omulembe
n’okukozesa abakugu obusingayo,
kuba ababbi buli olukya bayiiya
tekinologiya w’okubba.