SHEILA Ahabwe nga tannatandika ssomero lisomesa kufumba, yasooka kukola ebintu eby’enjawulo naye nga tebimmuka.
Ebigwo bye yagwa ebiwera, yeerwanangako n’asituka era ku nkomerero yeezuula kwe kutandika essomero lya Vine Kitchen and Vine Culinary and Hospitality School eritendeka abafumbi nga kati alina abayizi 50, ng’akozesa n’abakozi abasoba mu 30.
Y’amyuka pulezidenti w’ekibiina ekigatta abafumbi mu Uganda ekya Uganda Professional Chefs Union (UPCU). Awangudde engule z’enjawulo mu kufumba wano mu Uganda n’ebweru. Ng’asoma ku yunivasite, yatandika bizinensi ye esooka ey’okusuubula ebyokwewunda by’abakazi ng’abiguza banne.
Agamba nti yalina ensimbi 100,000/- n’afuna ekirowoozo ky’okutandika okusuubula era
n’akwatagana ne ssenga we eyali asuubula ebyokwewunda by’abakyala okuva e China. Yalinnyanga bbaasi okuva e Mbarara n’ajja e Kampala n’asuubula ebyokwewunda by’abakazi ku ssenga we, oluvannyuma kwe yagatta engatto n’ensawo ng’abiguza bayizi banne ku yunivasite n’okubitembeeya e Mbarara.
Mu 2008, yafuna omulimu mu United Nations (UN) ng’akolera mu disitulikiti y’e Isingiro. Oluvannyuma w’omwaka yeegatta ku Epicenter era n’addayo ku yunivasite n’asoma kkoosi ya Monitoring and Evaluation e Makerere. Yaddamu era n’asoma ne dipulooma mu Project Planning and Management ku UMI.
Oluvannyuma lw’okutikkirwa, Ahabwe yafuna omulimu ne Brand Active Company. Yakola nga bw’atunda n’ensawo z’abakyala mu kaduuka ke yali apangisizza mu Kampala.

Ahabwe
Ensobi z’olaba zikukakasa nti olina ky’okola era lemerako
“Nafuna ekirowoozo ky’okutandika okusomesa abantu ku bwereere era nabeerangako n’abakyala abatakka wansi wa 500,” Ahabwe bw’agamba. Abakazi be yasomesanga baamufunira emirimu ng’afumba ku mukolo okwali embaga, okwanjula n’emirala.
Oluvannyuma lwa Covid, yafuna omulimu omulala n’atandika okukola n’ekitongole kya Directorate of Industrial (DIT) ng’akola ogw’okugolola ebibuuzo by’abayizim abasoma okufumba.
Yaddamu n’afuna ekirowoozo ky’okusoma era n’agenda ku UMI n’asoma diguli eyookusatu mu Education and Human Resource Development.
OKUSOOMOOZEBWA
Ahabwe, agamba asanze okusoomoozebwa kungi okutuuka w’ali kati omuli;
1. Agamba nti okusikiriza abantu okumukkiririzaamu si kyangu n’okuzimba erinnya si kyangu.
2. Emiwendo gy’emmere egikyukakyuka olumu gimuviirako okufiirizibwa.
3. Omulimu gw’okufumba ku mikolo gumwetaagisa okubaawo mu buntu ate nga n’ebirala by’addukanya ng’esomero nabyo biba bimwetaaga ate nga mulimu
okukola ennyo n’okusitula ebizito. 4. Ng’oggyeeko okufuna obuzibu mu kutuukiriza bakasitoma bye beetaaga, waliwo n’embeera z’ebigwa bitalaze mu kufumba olumu olina okutambula mu kiro n’ebirala.
EBYOKUYIGA Agamba nti mu kukola ensobi, yakola eziwera naddala ng’abuuka kw’eno bizinensi nga bw’adda mu ndala. Naye kikulu okulemerako, osobole okutuuka ku kirungi