Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump, buli lukya ayongera kutaama n'ayongera okussa ensi ku bunkenke. Buli kye yasuubiza ng'anoonya akalulu agenda akissa mu nkola.
Nga bwe yagamba nti akooye ensi ezinyunyunta Amerika ngam terina ky'ezifunamu okuggyako ebizibu ebyereere asitukidde mu China, Mexico ne munywanyi wa Amerika, Canada n'ababinika emisolo mu ngeri China gy'eyise olutalo lw'ebyenfuna.
Trump yalagidde omusolo gwa bitundu 25 ku 100 ku byamaguzi byonna ebiva mu mawanga omuli Mexico ne Canada ate ebiva e China n'abissaako gwa bitundu 10 ku 100. Kino yakikoze okutuukiriza kye yayogera mu kampeyini nti ayagala eggwanga lye liddeyo ku ntikko mu buli kimu, naddala mu byenfuna.
Kyokka ne kkampuni eziyingiz ebyamaguzi ebiva mu mawanga
ago ziraalise Abamerika nti bigenda kweyongera ebbeeyi kuba ssente ezeeyongedde mu
bintu ebiva ebweru w’eggwanga zaakussibwa ku muntu wa bulijjo. Abakugu baalabudde nti mu bbanga lya mwaka gumu omusolo guno gugenda kuba nga gukendeezezza ku nnyingiza ya bannansi ssente ekitundu kimu ku 100 era abamu baakukosebwa kinene.
Kkampuni ziraze nti ebimu ku byamaguzi ebigenda okupaal kuliko sipeeya wa mmotoka, oil n’ebyuma bya mmotoka ebiva
mu mawanga ago era kkampun adde zisattira, ne bannansi ababadde bakozesa ebintu bino bali mu kutya.
Kyokka Trump agamba nti azze alabula kkampuni za Abamerika ezikolera e China nti ajja kuzissaako emisolo nti era kino okukyewala balina okuzimba fakitole mu Amerika bannansi bafune emirimu. Kkampuni za Amerika nnyingi zaggulawo zi fakitole
mu China ne mu bitundu by'ensi ebirala nga ziruubirira okusaasaanya ssente
entono ku bakozi kuba eyo zisasula abakozi obusente butono.
Wiiki ewedde kkampuni ya Apple, ekola essimu za iPhone yalangiridde
bw'egenda okuggulawo fakitole mu ssaza ly'e Texas, nga lyakuwa Abamerika
emirimu emitwalo 20.
ASAZIZZAAMU OBUYAMBI KU UKRAINE
Ng’oggyeeko eky’emisolo, Trump era asazizzaamu obuyambi America bw’ebadde ewa
Ukraine okulwana ne Russia ng’alumiriza Pulezidenti wa Ukraine obutasiima.
Trump ayongedde okwekyawa olw’enneeyisa ya Volodymyr Zelenskyy owa Ukraine, eyagenda mu lukiiko mu America basse emikono ku ndagaano esooka mu kukomya olutalo lw’eggwanga lye ne Russia ate n’adda mu kuyombesa Trump n’omumyukawe,
JD Vance. Trump ne JD nabo baamuddiza omuliro, olukiiko ne lugwa
butaka, gye byaggweeredde nga America esazizzaamu obuyambi bwonna. Ekyo Abazungu baakirabye nga ekiwadde VladimirPutin, owa Russia, enkizo mu lutalo okwongera okukuba Ukraine ng’abadde asinga okussa ssente n’emmundu mu ggwanga eryo abivuddemu.
Amawulire ga Reuters gaategeezezza nti, waliwo omukungu mu Gavumenti ya Trump eyafulumizza ekyama ekyo kyokka olw’okuba teyayatuukiriziddwa, waliwo amawulire amalala agaafulumye nga galaga nti, Trump tannakisalawo wadde akirowoozaako.
Amawulire amalala okuli; CNN, BBC, Al Jazeera, New York Times, The Guradian
n’amalala gaakakasizza ekya Trump okusazaamu obuyambi nga bannabyabufuzi mu Bulaaya bwe beebuuza ekiddako ku Putin eyabafuukira ekyambika.
Minisita wa Bufaransa akola ku nsonga za Bulaaya, Benjamin Haddad yalaze obuzibu amawanga gaabwe mu Bulaaya okuli Girimaani, Bufaransa, Bungereza, Budaaki, Sweden n’amalala bwe goolekedde nga Putin ali mu kukuba bulatti.
Trump yazzeemu okulumba Zelenskyy ku Mmande bwe yasomye ku mawulire ga Associated Press ng’owa Ukraine alaga olutalo bwe luli ewala ennyo n’okuggwa so nga Trump ayagala luggwe mangu.
“Kibi nnyo Zelenskyy okwogera ebyo naye America tejja kulwaw ng’ekyali mu ebyo!” Trump bwe yagambye. Reuters gagamba nti, bukya lutalo olwo lutandika mu 2022, America yaakateekamu obuwumbi bwa doola 175. Obuwumbi obulala busatu n’obukadde 85, Trump yazisanze ku akawunti nga Joe Biden gwe yaddidde mu
bigere yaziyisa ziyambe Ukraine mu byokulwanyisa, nazo zaakwatiddwa. China ewanda muliro China yeesasulizza ku America olw’emisolo Trump gye yababinise. China eyongezza ebitundu 15 ku buli 100 ku buli kyamaguzi ekiva mu America omuli; enkoko,
eng’ano, kasooli ne ppamba. Ku bino wammanga eyongeddeko ebitundu 10 ku buli 100; soya, omuwemba, ennyama y’embizzi, ey’ente, ebyennyanja, ebibala, ebivaavava, amata n’omuzigo.
Bino bitandika March 10, 2025.
EMMUNDU EZISINZE OKUYAMBA UKRAINE ZA AMERICA
l Ebikompola bya M777 Howitzer
l Ebikompola bya HIMMARS ebikuba ewala
l Patriots, mizayiro ezibaka ebikomopla
l Ennyonyi za F -16
l Ekika kya ttanka ekya Bradley
l Javelin zikuba ttanka
l ATACMS; Army Tactical Missile
Systems
l Abraham tanks
l Starlink satellite; Setirayiti za naggagga Elon Musk eziragirira emmundu okukuba tagyeti. Tannalangirira kuzigyako kyokka asobola kubanga akkaanya ne Trump.
EBIRALA AMERICA BY’EYAMBA UKRAINE
America y’eyamba Ukraine okupima tagyeti, y’egiyamba okuketta Russia n’enfo z’amagye n’ekozesa Precision weapons nga by’ebyokulwanyisa ebikuba tagyeti
ng’ebisinga era byaweebwayo America. Ekitongole kya bambega ba Ameica ekya CIA, ekisinga amaanyi mu nsi ky’ekiwa Ukraine ebigenda mu maaso mu Russia kumanya bw’etambuza olutalo. Wadde CIA kikolagana n’ebitongole ebirala nga bwe kyali
ng’ekya South Korea kizuula nti, Putin yapangisizza amagye ga Kim Jong Un owa North Korea 10,000, America esalawo bingi mu bitongole ebyo era bigiwuliriza nnyo.