Amawulire

Tororo, Wakiso ne Bushenyi zeetisse empaka za National Spelling bee

JONATHAN Awollo 13, omuyizi ku Tororo Parents Primary school erisangibwa mu disitulikiti y’e Tororo yeetisse empaka z’okusoma ebigambo eza National Spelling Bee ez’omulundi ogwa 13.  

Omuwanguzi Awollo (ali mu sweta ya kiragala) addiriddwa Peter Sendi Lwanga ne Leah Arinaitwe nga bali wamu n'abakungu b'ebitongole awamu n'abasomesa baabwe
By: Ritah Mukasa, Journalists @New Vision

JONATHAN Awollo 13, omuyizi ku Tororo Parents Primary school erisangibwa mu disitulikiti y’e Tororo yeetisse empaka z’okusoma ebigambo eza National Spelling Bee ez’omulundi ogwa 13.  
Awollo yawangudde banne 166 nga bano abasinga baavudde mu masomero ag’amaanyi okwetooloola eggwanga naddala agali mu Kampala, Wakiso, Mukono ne Masaka. Kyokka, omugatte disitulikiti 15 ze zeetabye mu mpaka zino.  
Awollo yayolesezza ttalanta y’okusoma ebigambo by’Olungereza n’aleka abalamuzi n’enkumi n’enkumi z’abazadde nga bamunyeenyeza mitwe. 

Abawanguzi baalese abalamuzi babanyeenyeza mitwe

Abawanguzi baalese abalamuzi babanyeenyeza mitwe


Ebigambo ebisinga byabadde bigumu era banne bangi byabalemye wabula ye, obwedda bakira asiriikiriramu n’okutunula enkaliriza ng’alabika ng’azitoowereddwa kyokka mu mu bu sikonda obuddako n’atandika okusoma nnukuta ku nnukuta okukkakkana ng’akimezze olwo enduulu n’esaanikira ekisenge kya Serena conference hall omwabadde empaka zino ku Lwomukaanga nga October 25, 2025.  
Abasomi baasunsuddwa mu laawundi ssatu era zonna Awollo yaziwangudde. 
Ekigambo ekyamuwanguzza engule ‘Allobroges’ yakisomye mu ngeri eraga nti kwabadde kuzannya n’akwagala.  Wabula abazadde bangi okuli n’omugenyi omukulu, Paul Isaac Musaasizi akulira Kiira Motors,  baawuliddwa bagamba nti tebakiwulirangako era nga tebasobola na kuteeba kye kitegeeza. 
Ate abamu baawakanye nti tekiri mu Luzungu ppaka abalamuzi bwe baalaze nti kigambo kya Luzungu era kitegeeza omugwiira oba omuntu gw’otamanyi.
Awollo yaddiriddwa Peter Sendi Lwanga okuva ku Pax Junior School mu disitulikiti y’e  Wakiso ne Leah Arinaitwe owa Parental Care Primary School e  Bushenyi.  
Ye Musaasizi yasigadde abaana abanyeenyeza mutwe wabula ne yeebaza abasomesa olw’omulimu ettendo gwe bakola.
Ate Diana Ondoga okuva mu Stanbic Bank ne Judy Samuels okuva mu Plan International bakkaatirizza amaanyi agali mu kuddingana ekintu ne bagamba nti abaana bano baalaze nti baddingana okusoma y’ensonga lwaki ebigambo ebisinga baabadde babimanyi oba nga baali babiwuliddeko. Kino nno bagamba nti kigenda kubafuula abaamaanyi mu biseera byabwe eby’omu maaso.  
Abawanguzi baaweereddwa emidaali, satifikeeti, kompyuta z’abaana n’essente akakadde kamu n’ekitundu buli omu, zibayambeko ku ffiizi. N’abaana abalala bonna 164 abeetabye mu mpaka baaweereddwa satifikeeti ate abasomesa baabwe ne baweebwa ettu ly’ebirabo okubasiima. 

Abazadde bajjumbidde empaka

Abazadde bajjumbidde empaka


Aaron Kirunda, akulira ekitongole kya Enjuba, ekitegeka empaka zino agamba nti abawanguzi bagenda kukiikirira Uganda mu mpaka z’okusoma ebigambo eza Africa Spelling bee ezigenda okubeera mu Zimbabwe ng’omwaka guno tegunnaggwaako. Zo zeetabwamu amawanga agasukka mu 20. 
Ye William Mukisa akulira eby’okusoma mu Enjuba agamba nti ng’oggyeeko okutegeka empaka, ekitongole kiwandiika obutabo bw’abaana n’okugabira amasomero ebitabo ssaako okutandikawo amasomero ga nnassale mu bitundu gye gatali nga bino byonna bigendererwamu okulaba ng’abaana b’eggwanga abali wansi w’emyaka 10 bayiga okusoma n’okuwandiika. Era baakaggulawo Literacy clubs 198 mu masomero ag’enjawulo okwetooloola eggwanga.
Tags: