Amasomero mukaaga agava mu ttundutundu lya Mukono lijoni erikolebwa disitulikiti okuli Mukono, Buikwe ne Kayunga aga ssiniya ge gayiseewo okugenda ku luzannya lwa Uganda yonna mu muzannyo gw’ensero (basketball).
Emizannyo gya ssiniya gigenda kubeera ku ssomero lya Ndejje S.S okuva nga April 26, 2024. Amasomero agayiseewo gavudde mu mpaka ez’akamalirizo mu mizannyo okubadde ogw’abawala nga Naalya S.S e Lugazi ewangudde Seeta High School Mbalala Campus ku nsero 30 ku 22 nga zino zombi ziyiseewo nga zeegattiddwako Seroma Christian High School ekutte eky’okusatu.
Emizannyo egy’akamalirizo okuli ogw’abawala n’abalenzi gizannyiddwa kutuuka njuba kugwa nga gino kumpi giwedde zigenda mu ssaawa bbiri ez’akawungeezi ng’obudde bukunidde ng’abasazi b’empaka balabiddwa nga baggyeyo n’ettaala nga tebakyalaba bye bawandiika.
Basketball
Mu gy’abalenzi, St. Cyprian High School Kyabakadde mu Mukono ewangudde Seeta High School A Campus ng’eno yeekyazizza emizannyo gino. St. Cyprian ewagudde ku nsero 58 ku 49.
Omukulu w’essomero lya St. Cyprian Kamya Joseph agambye nti mu myaka etaano gye bamaze nga beetaba mu mpaka zino, guno gwe mulundi gwabwe ogusoose okuziwangula. Ye Paul Bazira omumyuka w’omukulu w’essomero lya Seeta High School A Campus agambye nti wadde baawangula ekikopo kya disitulikiti y’e Mukono, babawangulidde ku gw’akamalirizo wabula ng’ate ekirungi kwe kuba nti beeyongeddeyo ng’emu ku ttiimu ezikiikiridde lijoni y’e Mukono.
Ismail Ssewaya Miti, omuwandiisi wa Mukono lijoni agambye nti amasomero 11 ge g’abalenzi ageetabye mu mpaka zino ate 12 ne geetaba mu z’abawala. Asiimye omutindo ogwoleseddwa abazannyi ba ttiimu ez’enjawulo.
Richard Muwummuza, ssentebe w’ekibiina ekifuga eby’emizannyo mu masomero ga ssekendule mu Mukono lijoni asabye amasomero agawangudde okwetegeka obulungi gasobole okwolesa omutindo omulungi gawangule ebikopo mu mpaka ezinabeera ku Ndejje S.S mu gw’okuna.