Amawulire

Ssentebe wa LC V e Lwengo alabudde abasomesa ku ky'okusaba abazadde ssente

Disitulikiti ye Lwengo eri mu katuubagiro kabasomesa ba gavumenti aboolekedde okusuulawo emirimu gyabwe baddeyo ku butaka gyebazaalibwa nga kivudde ku kukolera ewala ne gye basula ne bawunzika nga omusaala gwe bafuna guggwera mu byantambula.

RDC Hajji Ramathan Walugembe wakti ng'ali n'abakulembeze ba District abalala
By: Florence Tumupende, Journalist @New Vision
Disitulikiti ye Lwengo eri mu katuubagiro kabasomesa ba gavumenti aboolekedde okusuulawo emirimu gyabwe baddeyo ku butaka gyebazaalibwa nga kivudde ku kukolera ewala ne gye basula ne bawunzika nga omusaala gwe bafuna guggwera mu byantambula.
    Bino byanjuddwa akulira eby'enjigiriza mu disitulikiti eno Joseph Mulumba bwabadde awa alipoota ye mu nnyanjula y'omwaka gw'ebyensimbi 2024-2025 n'agamba nti tamanyi ki kyagenda kuzzaako olw'omuwendo gw'abasomesa abamusaba okuwummula n'okuddayo wakiri bakolera ku butaka gyebazaalwa ekiyinza okuvaako eby'enjigiriza okusereba mu Lwengo.
 
     Ye Akulira Abakozi George Ntulume agambye nti talina kyakuzzaako kuba omusomesa alina eddembe okusaba transfer oba okuwummula naye nga kino kyandikoleddwa singa ebisulo byabasomesa bizembezebwa okumpi kumasomero gyebakolera.
     
 Wano ssentebe wa disitulikiti Ibrahim Kitatta amwanukudde nti tekabatanda abasomesa ba gavumenti okukemebwa ne baggyako abayizi ssente z'okukola ebigezo byakamalirizo nga bekwasa obusongasonga kuba eyabaalula ejjakuba esiridde.
     Ono era alaze byebasuubira okukola mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja omuli okukola enguudo,ebyobulamu n'ebirala
    Bo bakkansala bagaala omwaka gw'ebyensimbi ogujja essira lissibwe ku PDM kuba bakooye obubbi obususe mu PDM,amazzi amayonjo n'ebirala.
    
 Mukwanjula embalirira eno mwetabiddwamu n'omubaka wa gavumenti Hajji Ramazan Walugembe abaanukudde ngabasaba bamufunire oyo yenna anakwatibwa ng'ajja enguzi ku bantu bamukoleko ng'amateeka bwegalagira.
    Walugembe.
   Embalirira y'omwaka 2024-2025 esuubira okuva ku buwumbi 44 Lwengo bweyafuna omwaka oguwedde bukke okutuuka ku buwumbi 38

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: