Amawulire

Abantu 50 abagambibwa okuba ab'omutawaana mu Kasese bakwatiddwa

Abantu abakunukkiriza mu 50 abagambibwa okuba ab’omutawaana e Kasese, bayoleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Abantu 50 abagambibwa okuba ab'omutawaana mu Kasese bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu abakunukkiriza mu 50 abagambibwa okuba ab’omutawaana e Kasese, bayoleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Kiyindidde mu bitundu omuli Nyakasanga, Kisanga, Kidodo ne Majengo cell Central diviizoni e Kasese.

Abamu ku baakwatiddwa, kuliko Elijah Kule, Tadeo Tugume, Deus Bulansale, Muhindo Segawa, Jeremy Mbusa, Huzaifa Kule, David Tumusiime, Richard Mugume n'abalala.

Kino kiddiridde okwemulugunya okuva mu batuuze n'abasuubuzi ku bubbi n'ettemu erikolebwa akabinja akeeyita Gazz group.

Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori East, Elly Maate, agambye nti ebikwekweto bigenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Kaseese
Mutawaana
Kukwatibwa
Musasi