Ssentebe wa LC1 abadde yaakalondebwa, afiiridde mu ddwaaliro e Mulago gye baamuddusizza ng'ali bubi.
Eriab Ssemanda, abadde ssentebe wa LC1 mu Kimwanyi mu muluka gw'e Sekamuli mu ggombolola y'e Bamunaanika e Luweero, afudde mu kiro ekikeesezza leero.
Ssemanda, abadde Ssentebe wa LC 1 mu kitundu ekyo okumala ekiseera era nga ne mu kulonda okwakaggwa, abatuuze baamuzizzaako ku ntebe gy'amazeeko ennaku ssatu zokka mu kisanja kino.
Enteekateeka y'okuziika omugenzi Ssemanda egenda mu maaso.