ABATUUZE abaatawandikibwa kufuna ssente za PDM batabukidde mu lukiiko nga bagala babannyonyole lwaki baalekebwa emabega , balumirizza n’akakiiko ka LC okulya enguzi ku nsonga ezitali zimu.
Mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwatudde mu Dobi zooni mu muluka gwa Makerere lll e Kawempe, abatuuze baalaze obutali bumativu nga bagamba waliwo kyekubiira mu kuwandiika abaagala ssente za Parish Development Model (PDM) nga baagala abavunaanyizibwa ku nsonga okukyusamu kuba nabo Bannayuganda.
Badru Katunzi, yalangidde abamu ku bali ku lukiiko lwa LC okulya enguzi ne batuuka n’okuviirako bannakigwanyizi okuzimba mu poloti ye.
Moses Mutebi, omu ku bavunaAnyizibwa ku kuwandiisa abaagala eza PDM mu muluka gwa makerere III e Kawempe yagambye nti abeemulugunya abasinga tebalina bisaanyizo nga baagala ntandikwa ng’ate eza PDM zaakwongera mu bantu abalina emirimu emitonotono.
Yagasseko nti mu muluka gwonna baasooka kuwandiisa abantu 979 nga kati baweze 2000 ng’ate ssente ntono.
Ahmed Alimanya, omu ku ba Giso mu Kawempe, bwe yabadde ayogera yagambye nti abantu abataagala kukola abamu beetaaga kubeera mu Zoo, ekintu ekyanyiizizza abatuuze ne bategeeza nga bw’abavumye.
Ku nsonga z’ebyokwerinda yasabye watondebwewo obukiiko bukwatagane ne poliisi batandike okulawuna ebitundu n’ekigendererwa ky’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.
Paul Mukwaya ssentebe wa Dobi zooni yategeezezza nti abatuuze okuvaayo ku nsonga y'enguzi efumbekedde mu kakiiko ka LC balimba kuba ensonga ze ezayogeddwako zaaliwo nga tebaliwo , ku nsonga y’ebyokwerinda yagambye abatulugunya abantu bava mu bitundu birala nga bakwatagana n’abamenyi b’amateeka ab’omu kitundu.
Sande Mubiru Bulevu akulira eby’okwerinda yagambye bakola ekisobooka okulaba nga balwanyisa abamenyi b’amateeka ng’era obukiiko we buli obulawuna ekiro ng’abatuuze balina kuba buli omu mbega wa munne