ObwaKyabazinga Bwa Busoga bufunye essanyu lya mirundi ebiri okuli okuzaala abalongo abalangira awamu n’okujaguza amatikkira ga Kyabazinga wa Busoga ag’omulundi 11
Katikkiro Nabbanja ng'asala kkeeki ne Kyabazinga.
Ku Lwomukaaga nnamungi w’omuntu yeeyiye ku kitebe ky’ObwaKyabazinga bwa Busoga e Bugembe mu Jinja okujaguza amatikkira ga Kyabazinga Isabirye William Gabula Nadiope IV ag’omulundi ogwa 11 ng’alamula ku kkonero.
Omulamwa gwabadde gukwata ku kulwanyisa omusujja gw’ensiri mu Busoga ne mu ggwanga okutwaliza awamu.
Wano nga yaakafuluma olubiri
Amatikkira geetabiddwako Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabanja eyakiikiridde Pulezidenti Yoweri Museveni.
Yeegattiddwako minisita w’ensonga z’obwapulezidenti Milly Babirye Babalanda. Nabanja yajjidde mu nnamunkanga w’ennyonyi eyamuteese ku kasozi Igenge olwo n’avugibwa mu mmotoka ze paka mu lubiri lwa Kyabazinga olwa Igenge okusobola okulamusa ku Kyabazinga.
Abasoga nga bayisa ebivvulu
Ku mukolo Kyabazinga eyabadde anekaanekanye mu gganduula ye yayaniriziddwa Katuukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala n’abamyuka be okwabadde Polof. Muhammadi Lubega Kisambira ne Alhaji Osman Noor Ahmed era yakulembeddwa minisita w’ebyobuwangwa mu Busoga, Richard Mafumo okugenda okukuba eng’oma ez’olulyo olulangira nga tannaba kutuula ku nnamulondo ye.
Yafunye n'abagenyi b'e bunaayira
Mu bubaka bwe, Kyabazinga yakubirizza abasoga okusigala ekitole basobole okukulaakulanya ebitundu byabwe gye bawangaalira naddala mu biseera bino bye balimu.
Yakubirizza abantu b’e Busoga okwongera okukuuma obuwangwa, empisa n’ennono za Busoga kubanga ziggyayo ki kye bali era ne zibafuula ab’obuvunaanyizibwa.
Kyabazinga n'abagenyi abamu ku baabaddeyo mu kifaananyi eky'awamu
Kyabazinga yakubirizza Abasoga okwongera okulima emmere kisobozese okwongera ku makungula okuva mu nnimiro zaabwe olwo ennyingiza mu makka gaabwe yeeyongereko.
Kkeeki eyasaliddwa.
Mu bubaka bwa Pulezidenti obwasomeddwa Katikkiro Robinah Nabanja, yategeezezza Abasoga nti buli omu alina obuvunaanyizibwa bw’ateekeddwa okukola okulaba ng’ekirooto kya NRM kituukirizibwa era n’asaba Abasoga okwenyigira mu pulogulaamu za gavumenti ez’ebyenkulaakulana nga PDM, emyooga, Operation Wealth Creation n’endala basobole okulwanyisa obwavu n’okwongera ku nnyingiza mu maka.
Nnankulu wa KCCA hajjati Sharifah Buzeki ng'agabulwa
Oluvannyuma Kyabazinga yeegatiddwako Katikkiro Nabbanja ne minisita Babalanda okusala kkeeki gye yagabudde abantu abaabaddewo ku mukolo.
Oluseregende lwa mmotoka