Amawulire

Pikipiki egambibwa okuba enzibe esuuziddwa ababbi e Masajja ku lw'e Busaabala

Pikipiki eno nnamba UMA 468 EN, kigambibwa nti esuuziddwa ababbi mu zzooni ya Masajja B ku luguudo lw'e Busaabala.

Pikipiki egambibwa okuba enzibe esuuziddwa ababbi e Masajja ku lw'e Busaabala
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Pikipiki eno nnamba UMA 468 EN, kigambibwa nti esuuziddwa ababbi mu zzooni ya Masajja B ku luguudo lw'e Busaabala.

Ssentebe wa LC1 Hajji Mayanja, agambye nti mu kiseera kino, eri mu mikono gya difensi nga bwe bakola entegeka okugitwala ku poliisi, okunoonyereza kugende mu maaso.

Ebyo nga bikyali ku bbali, yo poliisi e Buddo ekutte omwana ow'emyaka 16, agambibwa okuggirayo muzadde we ekiso, okumutema.

Omuzadde yawaliriziddwa okuyita abakakiiko ka LC1 mu zzooni ya Ssumba e Buddo, wamu ne OC wa Buddo Kings okumutaasa ku mwana eyabadde ataamye obugo.

Tags:
Amawulire
Masajja
Nzibe
Pikipiki
Busaabala
Babbi