"Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II gy'ali bulungi mu Lubiri lwe alamula Obuganda"

"Njagala okutegeeza Obuganda nti Ssabasajja gy'ali mulamu mu Lubiri alamula Obuganda era obulamu bwe bufiibwako nnyo mu ngeri ey’ekikugu," Mayiga bw'agambye.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga avuddeyo n'ategeeza Obuganda okwetoloola ensi yonna Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II gy'ali bulungi mu Lubiri lwe alamula Obuganda.

Mayiga ayongedde n'ategeeza nti eby'obulamu bwa Kabaka bifiibwako mu ngeri ey'omutindo ogw'ekika ekyawaggulu.

"Njagala okutegeeza Obuganda nti Ssabasajja gy'ali mulamu mu Lubiri alamula Obuganda era obulamu bwe bufiibwako nnyo mu ngeri ey’ekikugu," Mayiga bw'agambye.

Okwogera bino asinzidde Bulange-Mmengo ng'ayogerako eri okwetoloola ensi yonna ng'ayita ku mutimbagano.

Mu kwogerezeganya kuno mw'ayanukullidde ekibuuzo ky'omu ku bavubuka abaaweereza ebibuuzo byabwe ng'ayagala okumanyisibwa obulwadde bwa Kabaka we buyimiridde ekiseera kino.

"Kabaka asobola okujjanjabwa awatali kusonda kabbo. Ndowooza omuntu agoberera embalirira y’Obwakabaka akiraba bulungi nti tulina obusobozi obulabirira Kabaka awatali kwesonda nsimbi za kabbo," Mayiga bw'agaseeko.

Okuva 2020 obulamu bwa Kabaka Mutebi II bwatandika okufunamu obukosefu era emirundi egiwerako azze agenda e Bulaaya okujjanjabibwa wakati mu bazzukkulu ba Buganda okukolokota Mayiga naddala nga bayita ku mutimbagano gwa yintaneti nga bamulanga olw'obutakola kimala ku bulamu bwa Kabaka.

Esisinkano eno n'abuvubuka yeetabiddwamu Minisita w'amawulire mu Buganda, Noah Kiyimba, Minisita avunanyizibwa ku bantu ba Kabaka ababeera ebweru wa Buganda ne Uganda, Joseph Kawuki, Omukungu Peter Zaake akwanaganya ensonga z'abantu ba Buganda ababeera ebweru, ssentebe w'abavubuka mu Buganda, Baker Ssejjengo, Margaret Nakidde- omu ku Baganda ababeera e Budaaki n'abalala.