Ssabasumba Dr. Augustine Kasujja (Omubaka wa Paapa) atongozza ebikujjuko bya jubileewo y’emyaka 25 egya Serenity Centre Kabulamuliro, ne yennyamira olw’okweyongera kw’omuwendo gw’abavubuka abatawaanyizibwa obulwadde bw’omutwe obuva kukunywa omwenge n’okukozesa ebiragalalagala.
Asabye gavumenti okukwatagana n’ebitongole by’obwannakyewa ebibuudaabuda n’okujjanjaba abantu abalina obuzibu buno, eggwanga lisobole okuvvuunika ekizibu kino.
Brother we Kisubi ng'assaako omukono ku kizimbe ekigenda okuzimbibwa
“Mu kiseera kino eggwanga lyaffe liri mu kusoberwa. Buli bantu abakulu 4 b’osanga kubeerako 1 atawaanyizibwa obulwadde bw’obwongo, nga buva kuttamiiro n’okukozes ebiragalalagala. Ekizibu kino tekitalizza baana wadde abavubuka; okunoonyereza kulaga nti abaana n’abavubuka 23 kubuli 100 balina obulwadde obuva kumuze guno. Nemumasomero ebintu ssibirungi; abayizi nga 18 kubuli 100 balina obukosefu ku bwongo, ngabuva ku kwennyamira n’okweraliikirira,” Ssabasumba Kasujja bweyategeezezza.
Yabadde ku Serenity Centre e Kabulamuliro, ku Luguudo lw’e Ntebe, mu disitulikiti y’e Wakiso, ekifo kino bwekyabadde kijaguza emyaka 24 bukya kitandikibwawo, n’okukuza olunaku lwa Monica Omutuukirivu omuwolereza waakyo.
Ssabasumba y’alaze obweeraliikirivu olw’abutono bw’abasawo n’abakugu mukubudaabuda abantu, ekireeseewo embeera enzibu mu kaweefube w’okukendeeza omuze gw’okwesiwa amagengere, n’okukozesa enjaga n’ebiragalalagala.
Emmanuel Mubangizi ng'ateeka omukono gwe ku pulaani y'ekizimbe ky'abakyala ekigenda okuzimbibwa
Avunaanyizibwa kuby’omutindo mu Serenity Centre Fr. Dr. Richard Kyazze Kiprotich Atwooki y’awadde obweyamo nti bajja kugenda mu maaso n’okubudaabuda abantu, era n’okubajjanjaba nungeri ey’ekikugu.
Ssenkulu w’ekifo kino, Emmanuel Mubangizi, n’akulira olukiiko lwakyo olufuzi, Emmanuel Ngabirano, baayanjudde pulojekiti ez’enjawulo, ezigenda okukolebwa olw’okwetegekera emyaka 25 egy’ekifo kino, egyigenda okukuzibwa omwaka ogujja (2026). Pulojekiti zino kuliko okuwandiika ekitabo ekikwata kukifo kino ne ppulogulaamu zaakyo ez’okujjanjaba abantu, ate n’okuzimba ekisulo ky’abawala n’abakyala, kubanga bakizudde nti omuze gw’okutamiira n’okukozesa ebiragalalagala gweyongedde nnyo mubawala, n’abakyala.
Omukolo guno gwetabiddwako n;omukungu wa minisitule y’eby’obulamu avunaanyizibwa kukukendeeza okulwanyisa omuze gw’ettamiiro n’okukozesa ebiragalagala, Dr. Hafsa Lukwata, n’mukungu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala, Dr. Brian Ssekayombya, ngabano bombi beeyamye nti gavumenti ejja kugenda mumaaso n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’ayo obw’okutaasa obulamu bw’abantu ngababayamba obutanywa mwenge, n’obutakozesa biragalalagala.
Dr Augutine Kasujja ng'yigiriza mu mmisa
Omukolo guno gwetabiddwako ne Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika, n’omukugu w;okujjanjaba abantu abalina obukosefu ku bwongo, Dr. David Basangwa.
Ekifo kya Serenity Centre Kabulamuliro ky’atandikibwawo Abasaserdooti Abaminsane ab’ebibiina eby’enjawulo, okuli White Fathers (Missionaries of Africa), Mill Hill Fathers, ne Jesuit Fathers, era nga omwaka ogujja lw’ekigenda okuweweza emyaka 25. Obuweereza bwekifo kino bwabwannakyewa, era tekikola magoba