OLUVANNYUMA lwa ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okusiima okuggulibwawo kw'amasiro ga ssekabaka Kamanya e Kasengejje mu Wakiso, abalangira n'abambejja ssaako abatuuze batandise ebikujjuko eby'enjawulo.
Kinajjukirwa nti bannakigwanyizi abamu baatunda ku ttaka ly'amasiro gano kyokka ab'olulyo olulangira nga bakwataganye n'omukwanaganya waba Naava ne Ssaava ne banunula ettaka eryasigalawo ne batekako bbugwe.
Omukwanaganya waba Naava ne ba Ssaava, Naava Kaana yategezezza nti oluvannyuma lw'okununula ettaka eryasigalawo, baatukirira Kabaka asiime baddabirize amasiro ga ssekabaka Kamanya.

Walugembe ng'akutte ogumu ku miti egyaasimbiddwa. Ku kkono we ye Naava Kaana.
"Bbeene yasiima amasiro gano okuddamu okuddabirizibwa era naffe ne tutandika ku mulimu nga tukulembeddwa Nnaalinnya w'amasiro Stella Ndagire era nga twazimbako bbugwe, omulyango gwa Bujjabukula ewakumirwa abaserikale ba Kabaka, ennyumba Kasajja kali wano nebirara." Kaana bweyayongeddeko.
Yagambye nti emikolo gy'okuggulawo amasiro gya kuberawo ku Mmande nga December 15, 2025 nga jjajja w'obusiraamu Khassim Nakibinge yasubirwa okuba omugenyi omukulu ssaako abakungu abalala.
Kaana era yayongeddeko nti wakati mu kuggulawo amasiro gano, bakoze emikolo mingi omuli okusimba emiti mu Kasengejje wanno ng'emu kunkola y'okuzzaawo obutonde bwensi nga ssabasajja Kabaka bwalambika obuganda.
Yagambye nti kukusimba emiti, bagasseeko olusisira lw'ebyobulamu mwebagenda okujanjabira abantu kubwerere ssaako okubakebera endwadde ez'enjawulo omuli akawuka ka siriimu, nalubiri nendala.

Abazimbi nga bayoyoota amasiro
Omu ku balangira abali munteekateeka zino, Fellix Muteesa yategezezza nti basazeewo okusimba emiti ku masomero, amasinzizo,n'ekukkubo e Kasengejje ng'emu kumpagi ssabasajja zasiima nategeeza abantu be.
Yagambye nti okuwonya ensi ekyeya, bagenda kulaba ng'omulanga guno bagutambuza mubifo bya Buganda eby'enjawulo nebweru wabyo okulaba ng'abantu bamanya engeri gye bakumamu obutonde bwensi.
Ye Fredrick Walugembe yakunze abantu ba Buganda yonna omuli ba Naava ne ba Ssaava, ab'olulyo olulangira ssaako abantu abalala okubaawo ku lunaku luno olw'ebyafaayo.
Yayongeddeko nti oluvannyuma lw'amasiro gano, bagenda kulaba nga baddabiriza amasiro amalala gonna okutangira bannakigwanyizi kuba agasinga bangi ku banyazi b'ettaka ababadde bagerimbikako nga balaga nti gaabwe