Amawulire

Enteekateeka z'okufunira abantu be Buvuma eryato ly'eddwaliro ziwedde

ABANTU ku bizinga by'e Ssese ne Buvuma balidde nga balimi olw'Obwakabaka okumaliriza enteekateeka y'okubafunira Eddwaliro ly'eryato okutumbula obulamu obulungi n'obujjanjabi mu kitundu kino.

Eryato ly'eddwaliro
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

ABANTU ku bizinga by'e Ssese ne Buvuma balidde nga balimi olw'Obwakabaka okumaliriza enteekateeka y'okubafunira Eddwaliro ly'eryato okutumbula obulamu obulungi n'obujjanjabi mu kitundu kino.

Okuggusa enteekateeka eno, Obwakabaka bukolaganye n'ekitongole Kya lotale mu nsi yonna nga Kiri wamu ne Kiraabu za Bannayuganda eza Lotale.

Eryato ly'eddwaliro

Eryato ly'eddwaliro

Eddwaliro ly'eryato eriseyeyeza ku mazzi ligenda kumalawo akawumbi kamu n'obukadde 600 okutandika okukola.

Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Hajj Ahmed Lwasa era nga ye Mukwanaganya w'enkolagaana ya Lotale n'Obwakabaka yeyanjudde enteekateeka ya Pulojekiti eno eri olukungana lwa Bannamawulire olwabadde ku kitebe ky'Obwakabaka e Mmengo n'ategeeza nti eri wansi w’okutuukiriza Nnamutaayika wa Buganda 2023-2028 ali ku mulwamwa ogw’okubiri ogugamba nti okusitula embeera z’abantu ba Buganda mu by’enkulakulana n’ebyenfuna.

"Mu 2019, Minisita w'ensonga za Buganda ebweru, Joseph Kawuki yasisinkana Abakulembeze b'Essaza Northern California ne Nevada (ab'Obwakabaka) n'abanjulira obwetaavu bw'eryato eridduukirize (Boat ambulance) era n'abasaba okutema empenda okutuuka ku kiruubirirwa ekyaali mu kiseera ekyo mu Nnamutayiika 2018-2023," Hajj Lwasa bweyagambye.

Abakungu nga Bali mu lukungaana lwa Bannamawulire

Abakungu nga Bali mu lukungaana lwa Bannamawulire

Omumyuka w'Omwami w'essaza lya Northern California ne Nevada, Paul Kiruuta ng'ono yeyali alindiridde okubeera Pulezidenti wa lotale ye Antioch mu 2023 yawa amawulire ag'essanyu nga Kiraabu eno bweyali ey'okukolagana ne lotale ya Kampala Ssese Islands okuteeka mu nkola ekirowoozo kino.

Kyokka Minisita Kawuki yategeezeezza ng'oluvanyuma lw'enteseganya, kyakkanyizibwako okuva ku nteekateeka y'ambyulensi y'eddwaliro okudda ku ddwaliro ly'okumazzi olw'emigaso emingi gyeririna nti lyakuwa obujjanjabi obw'emitendera egiwerako okusinga ambyulensi enalinda alwadde.

Hajj Lwasa yagambye nti oluvanyuma lwa Rotary International okukkirizza okubakwatirako, Obwakabaka ne Bannamukago balina okutoola mangu ssente ezinasobozesa Eddwaliro lino okutuusibwa kuno mu bwangu.

" Ng'enkola ya Lotale bweeri, nnanyinni mufu y'akwata awawunya. Ku nsimbi zino, Buganda Amakula/Essaza Northern California  ne Nevada baakutoola 109,500,000/-, Lotale ya Antioch 60,225,000/-, Lotale ya Kampala Ssese Islands 20,000,000/-, Bannamukago abakolagana ne Lotale 711,750,000/-," Hajj Lwasa bweyamenyemenye engeri ensimbi z'eryato lino bwezinafunibwamu. 

Yagaseeko nti amangu ddala ng'ensimbi ezo zifuniddwa, Rotary International egenda kugattako ezibulayo ku ddwaliro n'ebirikolamu. 

Hajj Ahmed Lwasa (wakati) n'abakungu abalala mu kifananyi oluvanyuma lw'okulangirira enteekateeka za Pulojekiti ye Ddwaliro ly'eryato

Hajj Ahmed Lwasa (wakati) n'abakungu abalala mu kifananyi oluvanyuma lw'okulangirira enteekateeka za Pulojekiti ye Ddwaliro ly'eryato

"Eryato lino ligenda kuzimbirwa kuno. Ebyuma bwebinajja bigenda kutuusibwa Ssese mu Mikono gya Kampala Ssese n'Omwami w'essaza ly'e Ssese ng'ono agenda kunoonya abantu abanayamba mu mulimu gw'okuzimba era bayige nga bwekikolebwa," Kawuki bweyagambye.

Bwerinamalirizibwa okuzimbibwa olwo lilyooke lidde mu Mikono gy'Obwakabaka n'okulondoolwa kwa Lotale ya  Kampala Ssese Islands okumala emyaka etaano. Okusinzira ku ndagaano ebbanga eryo bwerinayitawo olwo obuvunanyizibwa busigale mu Mikono gy'Obwakabaka.

Gavana wa Lotale eyawummula owa disitulikiti 9213, Mike Ssebalu yeebazizza Obwakabaka olw’okukulembeza okutumbula embeera z’abantu n’alaga essuubi nti Pulojekiti y’eddwaliro ly’eryato egenda kuyamba Buganda ne Uganda okutwalira awamu okutuusa obujjanjabi ku bantu ababeera mu bitundu ebizibu by’okutuukamu.

David kintu okuva mu kampala Ssese islands yagambye nti n’abantu babulijjo basobole okwenyigira mu nteekateeka eno okuyita ku mutimbagano gwa lotale nga banyiga ekigambo DONATE nga beeyambisa ennamba #246208

Omwami w’essaza ly’e Ssese Kweba Augustine Kasirye yeebazizza Obwakabaka wamu ne Bannamukago baabwo olw’enteekateeka eno eruubirira okutumbula obulamu obulungi mu bantu ababeera mu nnyanja.

Tags: