Amawulire

Poliisi ekyabuuliriza ku kyavuddeko akabenje omwafiiridde abantu 10!

POLIISI  e Bugiri , ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku kabenje omufiiridde abantu  10 n'abalala basatu ne bagendera ku bisago eby'amaanyi.

Poliisi ekyabuuliriza ku kyavuddeko akabenje omwafiiridde abantu 10!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI  e Bugiri , ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku kabenje omufiiridde abantu  10 n'abalala basatu ne bagendera ku bisago eby'amaanyi.

Akabenje kaabaddewo ku ssaawa nga 12:00 ez’oku makya e Busowa mu disitulikiti y’e Bugiri ku luguudo oluva e Iganga okudda eTororo.

Kigambibwa nti akabenje kano, kaavudde ku mmotoka ttakisi nnamba UBN 817H eyabadde eva e Busia.

Ng’edda Iganga okulemererwa omugoba waayo n’eyambalira lukululana nnamba UA 647BA ebadde esimbiddwa  ku mabbali g’oluguudo.

Omusasi waffe ayongeddeko n’abamu ku beerabiddeko n’agaabwe okuli ne mmeeya wa Busowa Town Council Naminya Badiru ne bannyonnyola ku kabenje kano.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti mu  kiseera kino poliisi ekyali mu kifo awaagudde akabenje kano ekyakyekebejja.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kabenje
Kufa
Bantu