Ssaabasajja Kabaka asiimye abadde omumyuka wa Kaggo asooka agira akuuma entebe ya Kaggo

Ssaabasajja Kabaka asiimye abadde omumyuka wa Kaggo asooka, Alhaji Ahmed  Matovu Magandazi Ssaalongo agira atuula mu ntebe ya Kaggo okutuusa lw’anaasiima n’alonda Kaggo omujjuvu.

Hajji Magandaazi Matovu
By Samuel Tebuseeke
Journalists @New Vision
#Kabaka #Alhaji Ahmed  Matovu #okukuuma #entebe #Kaggo #asiimye

Bya Samuel Tebuseeke

Ssaabasajja Kabaka asiimye abadde omumyuka wa Kaggo asooka, Alhaji Ahmed  Matovu Magandazi Ssaalongo agira atuula mu ntebe ya Kaggo okutuusa lw’anaasiima n’alonda Kaggo omujjuvu.

Amawulire gano galangiriddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga e Bulamu mu maka g'omugenzi  Owek. Agnes Nakibirige Ssempa bw’abadde agenze okukubagiza abooluganda lw'omugenzi n'abaami ba Kabaka mu Ssaza Kyaddondo.

Katikkiro atenderezza Agnes Nakibirige Ssempa abadde Kaggo n’ategeezezza nti aswaziza abo bona abaali bamunyooma olwokubeera omukyala.

 Agambye nti Kabaka olwamulonda abantu baayogera ebigambo bingi naye abaswazizza nnyo kubaga abadde akola bulungi nnyo emirimu gya Kabaka.