BANNAMUKISA abawerako, bakwewangulira ekyapa ky'ettaka, ebyassava n'ebintu eby'enjawulo, mu nteekateeka ya Bukedde eya 'Gabula Ssekukkulu mu Vibe'.
Ekyapa ky'ettaka ekyokuwangulwa, kiva mu bannaffe aba B Clara H e Ggobero ku Hioma Road, dikooda , tv ne solar okuva mu bannaffe aba Star Times , enkoko okuva mu ba Ugachik.
Leero, enteekateeka eno lw'etongozeddwa era nga bannamukisa, bakujjuza akakonge mu lupapula lwa Bukedde okutandika ne Monday nga buli luvannyuma lwa wiiki bbiri, tujja kuba tuzannya akalulu , olwo bannamukisa bawangule.
Ku bukedde Ffa Mma embuutikizi, bannamukisa bakwewangulira ssente nga beetaba mu kukuba essimu mu progulaamu ez'enjawulo , ng'agikulira Ronald Sebutiko bw'annyonnyodde.
Ye akulira olupapula lwa Bukedde, Micheal Ssebbowa, n'akulira okusaasaanya amawulire ga Vision Group Bruce Byaruhanga akunze abantu okujjumbira olupapula luno, okwewangula ebirabo.
Abavujjirizi okuli Odrine Nsubuga okuva mu startimes, Habert Sennyonga owa B Clara H ne Tonny Kimbugwe kitunzi wa Ugachik, basiimye Bukedde okwegatta nabo okusobozesa abasomi n'abalabi okuwangula ebirabo by'amazaalibwa.