SIPIIKA wa Palamenti Anita Among atenderezza emirimu gya bannaddiini mu kutumbula eggwanga. Sipiika Among atenderezza bannaddiini okuteekawo amalwaliro, amasomero n’amatendekero aga waggulu era kino kiyambye Gavumenti okuzimba omusingi ogwo.
Bino bibadde mu bubaka obusomeddwa omubaka akiikirira Mbarara City South, Mine Mpaka amukiikiridde ku mukolo ng’ekigo kya Kakoma mu ggombolola y’e Birere mu disitulikiti ye Isingiro bakuza olunaku lw’okulinnya kwa Bikira Maria mu Ggulu ku Mmande.
Mu Mmisa eno batongozza kaweefube w’okuzimba mateneti ku Kakoma Health Center II. Sipiika yawaddeyo ssente 20,000,000/-, ate omubaka Mpaka 2,000.000/- okudduukirira omulimo guno.
Ye minisita w’ebyamagana Lt. Col. Dr. Bright Rwamirama yasabye abantu okumanya nti omulimu guno baagala gukwatibwe omulundi gumu