ABAWAGIZI b'ekibiina kya NUP basatu bakwatiddwa, ku bigambibwa nti babadde bagezaako okwekalaakasa.
Julius Kibuga 3, omutuuze w'e Katooke nga muvuzi wa mmotoka , Isma Sennabulya 25 ng'abeera Mulago ne Fred Lwanga be bakuumirwa ku poliisi e Wandegeya , ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.
Mu birala ebiwambiddwa, kwe kuli emmotoka nnamba UAK 092V nga nayo ekuumirwa ku poliisi e Wandegeya.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza nti abakwate, babadde bagezaako okukuba olukung’aana mu bukyamu n'okugezaako okwekalakaasa nga batambula, ekitakkirizibwa