SIPAPA: Bamuggye mu kkomera ne bamutwala okukebera mmotoka ze

EGGULO kkooti yatudde mu ngeri ey’enjawulo ku poliisi e Kabalagala ku misango egivunaanibwa Charles Olimi abangi gwe bamanyi nga Sipapa ne mukazi we, ShamiraLukia Nakiyemba.

SIPAPA: Bamuggye mu kkomera ne bamutwala okukebera mmotoka ze
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EGGULO kkooti yatudde mu ngeri ey’enjawulo ku poliisi e Kabalagala ku misango egivunaanibwa Charles Olimi abangi gwe bamanyi nga Sipapa ne mukazi we, Shamira
Lukia Nakiyemba.
Yakubiriziddwa omulamuzi Micaheal Elubu era nga Sipapa yabaddewo ne mukazi we wakati mu bukuumi obw’amaanyi.
Munnamateeka wa Sipapa, Henry Kunya yategeezezza nti, ekigendererwa kyabadde kya
kukakasa oba nga ddala ebizibiti by’emmotoka ze baabowa okuva mu maka g’omuntu we agasangibwa e Buwaate mu munisipaali y’e Kira ne ssente enkalu eziwera doola emitwalo 7 byabadde bikyaliwo kkooti esalewo oba nga bitundibwa ku nnyondo oba nedda.
Kigambibwa nti, mukazi wa Sipapa yagattibwa ku musangoguno oluvannyuma lw’abaserikale okumukwata lubona ng’agezaako okukukulira obujulizi bwa ssente
(doola 7,000) ezimu kw’ezo ezabbibwa ku Musudan Joseph Arok.
Ahmed Ssonko, omulala gwe baakwata ne Sipapa, kigambibwa nti, poliisi yamusanga aliko emu ku mmotoka ya Sipapa, ekika kya Jeep, gye yali afuuyira langi mu ngeri y’okubuzaabuza endabika, era nga yali eteeberezebwa okuba enzibe.
Kigambibwa nti, waliwo enteekateeka z’okutundira ku nnyondo mmotoka ttaano n’ebintu eby’enjawulo okuli emipiira gy’emmotoka, liimu zaazo, amasimu, ekyuma ekifuuyira emmotoka langi n’ebipampagalu by’emmotoka poliisi bye yaggya mu
maka ga Sipapa, bizzeewo ssente Sipapa z’agambibwa okuba nga yabba ew'Omusudan Arok e Kawuku ku lw’e Ntebe. Sipapa yali yakwatibwa n’omujaasi wa SFC, Caleb Akandwanaho ne Ssonko akola obwamakanika. Kigambibwa nti, Sipapa ne banne
baalumba amaka g’Omusudan nga August, 28 ne 29, 2022 ne bamukuba kalifoomu ne babba ebintu eby’enjawulo omwali ssente enkalu ezisoba mu
kawumbi kamu, essimu ekika kya Iphone 4, ttivvi, kompyuta ekika kya laptop n’ebirala