Abakulira eddwaliro lya Gv't e Jinja basattira lwa bbanja ly'amazzi

ABATWALA eddwaliro lya Jinja Regional Referral Hospital bategeezezza nga bwebasazeewo kusima zi nakikondo wamu n’okwongera ku mappipa okwewala ebisaale by’amazzi ebingi ebirinya buli kati olw’ebbanja lyebalina kati lya myaka 13.

Abakulira eddwaliro lye Jinja nga bali mu kakiiko ka COSASE
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

ABATWALA eddwaliro lya Jinja Regional Referral Hospital bategeezezza nga bwebasazeewo kusima zi nakikondo wamu n’okwongera ku mappipa okwewala ebisaale by’amazzi ebingi ebirinya buli kati olw’ebbanja lyebalina kati lya myaka 13.

Bino bitegeezeddwa akulira eddwaliro lino Dr. Alfred Yayi bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’omuyi w’omusolo okwanukula ku kwekumulugunya kwa ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti mu alipoota ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023/24.

Dr. Yayi agambye nti eddwaliro liririna ebitebe bibiri okuli neky’e Nalufenya nga buli kimu kirina mita yaaky, nga emyaka 3 egiyise baali beyambisa obukadde 100 buli mwezi ku mazzi wabula nga kati emyaka 3 ejiyise olw’obungi bw’abakozi n’abalwadde okweyongera, beyambisa wakati w’obukade 150 ku 200 omwezi.

Wabula alipoota eraga bano balina amabanja ga obwumbi 3 n’obukadde 400 mu mwaka 2023/24, nga omwaka bwegwagwerwako baali basasuddeko obukadde 167.

Amyuka ssentebe w’akakiiko kano Gorreth Namugga yemulugunyiza ku bbanja ly’amazzi eriri waggulu ate nga bamaze nalyo emyaka 13.