POLIISI efulumizza ekifaananyi ky’omutemu eyatta mu bukambwe abafumbo abaali
baakadda okuva e Bulaaya gye baali bamaze emyaka egisoba mu 30.
Omwami yali awummudde obuweereza bwe mu bbanka ez’amaanyi ezitereka ssente
z’abagagga mu nsi yonna.
Omutemu ono poliisi emutaddeko obukadde 50 eri yenna anaayamba okumukwata avunaanibwe ogw’okutta abantu. David Mutaaga, 69 ne mukyala we Deborah Florence, 62, abaali bamaze emyaka egisoba mu 30 e Zurich mu Switerland baatemulwa nga July 6, 2025 mu maka gaabwe e Lugonjo - Nakiwogo mu munisipaali y’e Ntebe.
Okunoonyereza kwa poliisi kulaga nti, omutemu yasookera ku musajja n’amusanjaga ebiso era mukyala we olwalaba bba ng’alaajana n’abaka essimu n’abaako omuwala eyali
atera okubayambako awaka gw’akubira abayambe ategeeze ssentebe w’ekyalo ne poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, yafulumizza ekifaananyi n’eddoboozi ly’omutemu awulikika ng’ayogeza obukambwe eri Mutaaga nti,
“Ggwe ssebo waweerera abaana bo ne basoma kyokka abaffe batudde waka babonaabobaMutaaga awulirwa mu katambi nga yeegayirira omutemu asooke amuleke bagende mu ddwaaliro.
Omutemu era awulikika ng’agamba nti, ekimututte mu maka gano asobole okubaako
ky’akola era addamu okuwulikika ng’ayita omukyala okwanguwa ataase omwami we kuba yali afa. Rusoke yagambye nti, poliisi etaddewo obukadde 50 ez’okuwaomuntu yenna anaayamba okuteeba eddoboozi ly’omutemu era abaserikale abanoonyereza
ku musango bataddewo ennamba y’essimu 0769675918 abalina amawulire kwe basobola okugituukirira okugiwa amawulire.
EBIRALA EBIZUUSE KU BAFUMBO
Ensonda zaategeezezza Bukedde nti, ettemu lino lyandiba nga lyekuusa ku nkaayana z’ebintu by’omugenzi Ernest Kibirige, eyaliko heedimansita wa Buddo Junior School era nga ye kitaawe wa Mutaaga.
Kibirige era yaliko heedimansita w’essomero lya pulayimale erimu e Ntebe bwe
yali tannafuulibwa akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Mityana. Kibirige yafa mu
1998, ate mukyala we Christine Kibirige, n’afa mu October, 2015. Bano baalina abaana mukaaga; abalenzi babiri; Ssaalongo Isaac Sekiya (omukulu), ne Mutaaga (omwana owookuna) era eyasikira kitaabwe.
Ku bawala abana, abaana babiri baafa, okwali eyategeerekese nga NamusokeKibirige ne Ruth Kibirige.
Abaasigalawo kuliko; Sarah Kibirige, abadde yaakadda okuva e South Afrika ne Nalusugga Kibirige.
Lawrence Kimbowa, omu ku bataka b’oku kyalo Buddo Naggalabi, yategeezezza Bukedde nti, okuva lwe baafiirwako bakadde baabwe, Mutaaga abadde mpagiruwaga mu ffamire nga buli kimu kwe kitambulira. Lutwama Lwanga, eyaliko omusomesa mu Buddo Junior, yategeezezza nti, omugenzi abadde muntumulamu era ne lwe
yayanjulwa mukyala we (naye gwe basse), ye yabakulemberamu okugenda mu maka g’eyaliko minisita ku mulembe gwa Iddi Amini, Henry Kyemba. Yagambye nti, omwaka
oguwedde, Mutaaga yali musaale ku mikolo gy’okujjukira abayizi abaasooka okusomera ku Buddo Junior. Yagambye nti, abagenzi abattiddwa baasisinkanira Makerere, era omukwano gwabwe ne gweyongera okutinta okutuusa lwe baafumbiriganwa ne bazaala
n’abaana baabwe ababiri.
Yayongeddeko nti, nga June 16, 2022, Mutaaga, yamuwuniikiriza, bwe yasitula Omulangira David Golooba (naye kati omugenzi) ne bamukyalira mu maka ge.
Kigambibwa nti, ng’oggyeeko Christine Kibirige, kitaawe wa Mutaaga, alina omukyala omulala gwe yazaalamu abaana mu bitundu by’e Kasubi, kyokka nga bano enkolagana yaabwe ebadde temmuka bulungi.
Bino bye bimu ku poliisi by’etunuulidde wakati mu kunoonyereza okugenda mu
maaso. Waliwo ebigambibwa nti, eyasse abagenzi alina okuba nga yabadde abamanyi bulungi si kulwa nga na wa ffamire.
Abalala bagamba nti, ekizimbe omugenzi Kibirige, we yali atera okubeera e Ntebe ng’awummudde emirimu gye nga kiri kumpi ne Leisure Park mu Kitooro,
kyandiba nga kye kimu ku kyavuddeko kanaaluzaala. Mu kiseera kino, emirambom gy’abagenzi gyombi teginnaziikibwa era nga n’awaka awalina okukumirwa olumbe,
wakyali wasirifu, abatuuze tebannaba kugendayo