Rwanda ne South Africa bayiye GOMA, DR Congo RWANDA eggyeeyo emmundu lwasamayinja bwe yeekengedde South Africa eyiwa emmundu ez’amaanyi mu DR Congo. South Afrika balumiriza Rwanda okuwagira abayeekera

RWANDA eggyeeyo emmundu lwasamayinja bwe yeekengedde South Africa eyiwa emmundu ez’amaanyi mu DR Congo.

Ennyonyi ya Rwanda ekika kya Nnamunkanga ng’esuula abajaasi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

RWANDA eggyeeyo emmundu lwasamayinja bwe yeekengedde South Africa eyiwa emmundu ez’amaanyi mu DR Congo.
South Afrika balumiriza Rwanda okuwagira abayeekera ba M23 abasse abajaasi baabwe 14 mu Congo. Olutalo lw’e Congo lusise amawanga amalala agayiyeeyo emmundu olw’abeyeekera abaawambye ekibuga Goma n’okutta abajaasi b’ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations (UN) agabadde gakuumayo.
Abattiddwa kwabaddeko aba South Africa 14, owa Tanzania, aba Malawi babiri n’abalala okusinziira ku UN. Kino kyaviiriddeko South Africa okutabuka ne Rwanda era buli omu alinze kiddako.
Olutalo lw’ebigambo olwasoose okubalukawo wiiki ewedde wakati wa Pulezidenti wa Rwanda, Paul Kagame n’owa South Africa, Cyril Ramaphosa lwavudde ku bayeekera ba M23 abagambibwa nti bawagirwa Rwanda ekyanyiizizza Ramaphosa n’ayogerera Rwanda nga bw’aleeta amagezi g’okuteesa olutalo lukome kyokka Kagame n’amuddamu nti, talina by’akubiriza bya lutalo kuggwa ng’ate ayongera kuluyiwamu mafuta.
Pulezidenti wa DR Congo, Felix Tshisekedi ng’abayeekera ba M23 baakamala okuwamba Goma, ekibuga ekisinga obunene mu buvanjuba bwa Congo, yagaanye okwetaba mu nteeseganya z’amawanga g’omukago gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa ogwa East African Community (EAC) n’asalawo kwetaba mu lwa mukago gwa SADC ogugatta amawanga g’amaserengeta ga Africa omuli South Africa.
Kino kyanyiizizza aba EAC naddala eyali alukubiriza William Ruto owa Kenya. Amawulire agatali ga buli omu agaava mu lukiiko lwa SADC, eggye ly’omukago ogwo okuli ery’eggwanga lya Namibia, Angola, Zimbabwe n’amalala gwatandika okukuluumulula emmundu nga gazitwala e Congo okunyweza ebyokwerinda abayeekera baleme kuwamba bibuga birala.
Abayeekera baabadde basemberedde ekibuga Bukavu nga nakyo banaatera okukiyingira. Waliwo olukiiko olulala olw’amawanga ga EAC okuli Uganda, Tanzania, Kenya, Rwanda, Burundi, South Sudan n’amalala olugenda okutuula mu kibuga Arusha ekya Tanzania okuteesa n’amawanga g’omukago gwa SADC okukomya olutalo olwo.
Ng’amawanga bwe geetegekera olukiiko olwo, agamu ku mawanga ago naddala Rwanda, South Africa, Burundi, Angola, Congo n’amalala gaamaze dda okusimba emmundu eziri obulindaala okulwana mu lutalo nga bwe kinaabeera kyetaagisizza.
Kagame amaze ebbanga ng’ategeeza eggye lya Rwanda bwe litali mu kuyamba bayeekera ba M23 kuba balwanira bwenkanya, kyokka eggwanga lye lyamaze okutendeka abajaasi ab’amaanyi n’ebyokulwanyisa eby’amaanyi ebiri ku nsalo okwerinda singa olutalo lusammukira mu ggwanga lyabwe.
Wabula amawulire ga The Guardian gagamba nti, amagye agali ku nsalo, essaawa yonna galinze kwesogga munda mu Congo