Bassentebe ba NRM mu diviizoni ettaano ezitwala Kampala bawanjagidde sipiika wa palamenti, Anita Among okubayambako okulaba ng’ekibiina kiddamu okufuna obuganzi mu Kampala ne Buganda okutwaliza awamu.
Banna Nrm Okuva Mu Kampala Nga Beekubya Ekifaananyi Eky'awamu Ne Sipiika Ku Palamenti.
Bano nga bakulembeddwa mmeeya wa division ya Kampala, Salim Uhuru, eggulo bazze ku palamenti okusemba Among ku ky’omumyuka wa ssentebe w’ekibiina omukyala era baategeezezza nti ebikyayisizza NRM mu Kampala bintu bitono ebisobola okugonjoolwa wabula ng’ate n’obukuubagano mu bo bennyini nga bannakibiina nti bukoze kinene obuwagizi okukendeera.
Uhuru agambye nti nga bannakampala, babadde balekebwa emabega nga abanene mu kibiina basinga kufa ku bitundu birala, nga ke kadde baddemu bezze buli kifo mu Kampala nga bakolaganira wamu.
Abamu Ku Banna Nrm Nga Beekubya Ka Selfie Ne Sipiika
Hajjati Madina Nsereko owa diviizoni ya Kawempe ategeezezza nti ebyobulamu ku Kampala bikaabya amaziga nga eky’ennaku abantu babasasuza ssente mpitirivu mu malwaliro n’amasomero ga gavumenti ekintu ekimwenyamiza nga omusawo.
Majjambere Kamuntu Ivan ow’e Rubaga agambye nti ekibadde kibulamu okwezza Kampala kwe kubulwa omuntu ku kakiiko akafuzi mu NRM omukozi era nga essuubi balitadde mu sipiika Among.
Sipiika Among bano abajjukizza okubeera abasaale abasooka mu kukunga abantu baleme kwetuulako nga balaba ekibiina kifuuka ekisekererwa mu Kampala n’abategeeza nti ye azze kukola na buli muntu nga mu zi ghetto ajja kutuukayo okulaba nga NRM eddamu okufuna obuganzi.