Ow'emyaka 10 ayimbye ku kukuuma ekibuga Kampala

SULAIT Mulindwa ow’emyaka 10 nga muyizi ku Bright Junior school Buloba, y’omu ku baana abeesowoddeyo okugatta ettoffaali ku kisaawe ky’okuyimba. 

Ow'emyaka 10 ayimbye ku kukuuma ekibuga Kampala
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Amawulire #Buloba #Bright Junior school Buloba #SULAIT Mulindwa #Moureen Nakate #Lubaga #Nalukolongo

SULAIT Mulindwa ow’emyaka 10 nga muyizi ku Bright Junior school Buloba, y’omu ku baana abeesowoddeyo okugatta ettoffaali ku kisaawe ky’okuyimba. 

Ono abamu bamumanyi nga Computer, Integrated operating System nga mutabani wa Sulait Bukenya ne Moureen Nakate ab’e Nalukolongo mu Lubaga. 

Asoma P4 wabula okuyimba yakutandika asoma P2 nga kati asomera na ku bbasale lwa kitone kye. 

Ayimba myuziki ekika kya Luga Flow, alina ennyimba okuli; hhenda mu City, Kuuma ekibuga Kampala, Tusimbe emiti, Ndikuzza Mbale, Yingira Ehhoma n’endala. 

Mulindwa agamba nti alina ekirooto ky’okufuuka omuyimbi ow’amaanyi mu nsi yonna era ayimba mu nnimi okuli; Oluganda, Oluzungu, Olugishu, Oluswayiri.