Abatakabanira obutonde bw’ensi, basabye gavumenti okuvaayo eteeke mu nkola amateeka agabakuuma,

ABAKAZI abalwanirizi b’eddembe abatakabanira obutonde bw’ensi, basabye gavumenti okuvaayo eteeke mu nkola amateeka agabakuuma, kibataase ku kutulugunyizibwa n’effujjo eribakolebwako aboonoona obutonde, abeebyokwerinda n’abantu ba bulijjo.

Abatakabanira obutonde bw’ensi, basabye gavumenti okuvaayo eteeke mu nkola amateeka agabakuuma,
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Ddembe #butonde #buntu

ABAKAZI abalwanirizi b’eddembe abatakabanira obutonde bw’ensi, basabye gavumenti okuvaayo eteeke mu nkola amateeka agabakuuma, kibataase ku kutulugunyizibwa n’effujjo eribakolebwako aboonoona obutonde, abeebyokwerinda n’abantu ba bulijjo.

Abakazi bano abeegattira mu kibiina ekya ‘Women Human Rights Defenders Network (WHRDN)’, bagamba nti batulugunyizibwa buli lwe bavaayo okuwakanya emirimu egikosa obutonde, egiba gikolebwa abantu abanene mu bifo ng’entobazzi, ebibira n’ebirala.

Baasinzidde ku mukolo gwe baategese, okukuza olunaku lw’obutonde mu nsi yonna, olugenda okubaawo ku Lwokuna lwa wiiki eno, nga baalukuliza ku mulamwa ogugamba nti, “Okukuuma n’okutaasa abakazi abalwanirira obutonde mu Ntinda”.

Diana Natukunda, omu ku balozezza ku bukaawu bw’aboonoona obutonde, agamba nti waliwo omukuumi wa kkampuni ey’obwannanyini eyamukkakkanako n’amuvuma n’okumulangira nga bw’akotoggera enkulaakulana, olw’okuba yali agaana bakama be okuyiwa ettaka mu lutobazzi.

Akulira ekitongole kya Women Human Rights defenders network – Uganda, Brenda Kugonza yagambye nti abakazi benyigidde mu lutalo lw’okutaasa obutonde, kyokka babatulugunya, olw’okubalemesa okukola emirimu egisaanyaawo entobazzi n’ebibira. 

Yasabye gavumenti okuyita mu kitongole kya NEMA ne minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi, okuyamba n’okutaasa abakazi bano n’okussa ku nninga amakampuni ageefunyiridde okusaanyaawo entobazzi.