Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti y’e Buikwe, Hajjati Hawa Namugenyi Ndege yeekokkodde omu ku bapulofeesa ababadde bamusomesa okumusuulaa ebigezo mu bugenderevu n’amala emyaka 5 ng’asoma ddiguli eyookubiri etwala emyaka 2 gyokka.
Hajjati Hawa Namugenyi gwe batikkidde ddiguli ey'okubiri. Management Eggulo E Makerere
Namugenyi y’omu ku bannabyabufuzi abaattikkiddwa ddiguli ey’okubiri olunaku lwa leero era yakuguse mu kuddukanya n’okulondoola ebintu bya gavumenti okuli enguudo za UNRA, amalwaliro, amasomero n’ebirala, okukakasa oba nga biri mu mbeera nnungi ate nga n’ababiddukanya nabo emirimu gyabwe bagikola mu butuufu bwagyo (Masters in public infrastructure management).
Yasibiridde ne bannabyabufuzi banne entanda n’abakubiriza okwettanira okuddayo okusoma. “Yadde balina ssente nnyigi, zireme kubaziba maaso basitukiremu baddeyo okusoma kuba okwongerako ku mpapula zo ez’obuyigirize kintu kikulu nnyo”,
N’omubaka wa palamenti owa Bugweri County Abdu Katuntu naye abadde mu ssanyu olwa muwala we Janelle Kasiri Katuntu okutikkirwa ddiguli ye esooka.
Kasiri yakuguse mu kwekenneenya n’okuwabula ku matigga agali mu bizinensi ezitali zimu (Bachelor of Actuarial Science).
Janelle Kasiri Katuntu muwala W'omubaka Abdu Katuntu.
Mungeri y’emu n'omubaka wa palamenti owa Budadiri West ateera nga ye ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC, Nandala Mafaabi, naye yasitukiddemu n’agenda e Makerere okubeerawo ng’omujulizi nga Muwala we Pheobe Alupo atikkirwa ddiguli ye esooka mu by’obubazi (Bachelor of Statistics).
Mu balala mubaddemu omukozi wa Bukedde TV 1, George William Buyondo, eyabaddeyo nga omujulizi nga kitaawe omuto Vincent Ssajjabbi atikkirwa ddiguli ey’okusatu mu by’enfuna (PhD in Economics).
Bwe yabadde akakasa ddiguli zaabwe, amyuka akulira yunivaasite y’e Makerere, Polofeesa Barnabas Nawangwe yeeyamye okussa mu nkola ekiragiro kya minisita w’ebyenjigiriza, Janet Kataha Museveni eky’okunoonyereza ku nsonga y’omuwendo gw’abayizi abalenzi abatikkirwa ogugenda gweyongera okukendeera buli matikkira agabeerawo.
Ekiragiro kino, Kataha yakiyisa mu bubaka bwe yatikka minisita w’ebyenjigiriza eby’awaggulu JC. Muyingo bwe yali aggulawo amatikkira ga Makerere ku Mmande.