RCC we Nakawa ayingidde mu nkaayana z'ettaka e Naguru

OMUBAKA wa Pulezidenti e Nakawa Sheik Kassim Kamugisha ayingidde mu nkayana z'ettaka ly'Omuzikiti gw'e Naguru Kiwalimu n'agumya Abasiraamu bo mu kitundu nga bwewatali agenda kusenda muzikikiti gwabwe. Kino kidiridde Abasiraamu bo Mu kiwalimu e Naguru nga bakulembeddwamu Hajji Ahmed Matovu okwekubira enduulu mu Wofiisi ya RCC w'e Nakawa gye buvuddeko nga bemulugunya ku bagagga bebalumiriza okwagala okusenda omuzikiti gwabwe nga bagamba nti be balina ekyapa ky'e Ttaka okutudde omuzikiti!

RCC ng'ayogera mu lukiiko lw'omuzikiti
By James Magala
Journalists @New Vision
OMUBAKA wa Pulezidenti e Nakawa Sheik Kassim Kamugisha ayingidde mu nkayana z'ettaka ly'Omuzikiti gw'e Naguru Kiwalimu n'agumya Abasiraamu bo mu kitundu nga bwewatali agenda kusenda muzikikiti gwabwe.
 
Kino kidiridde Abasiraamu bo Mu kiwalimu e Naguru nga bakulembeddwamu Hajji Ahmed Matovu okwekubira enduulu mu Wofiisi ya RCC w'e Nakawa gye buvuddeko nga bemulugunya ku bagagga bebalumiriza okwagala okusenda omuzikiti gwabwe nga bagamba nti be balina ekyapa ky'e Ttaka okutudde omuzikiti!
Bamasheikh nga bali ku muzikiti

Bamasheikh nga bali ku muzikiti

Embeera eno ye yawalirizza RCC w'e Nakawa Sheik Kassim Kamugisha okutuuza olukiiko ku Muzikiti guno okuwuliriza enjuyi zonna ezikayanira ettaka lino era nga eno Abasiraamu bo mu Kiwalimu bamutegeezezza nga bwebali mu kutya nti omuzikiti gwabwe guyinza okusendebwa essaawo yonna ekintu ekiberaliikirizza.
 
Abasiraamu banyonyodde RCC Kamugisha nti omuzikiti gwabwe gubaddewo ebbanga nga tebalina buzibu nti kyokka kyabewunyisizza okulabanga wavaayo abantu abagamba nti balina ekyapa ne bamusaba wabeewo okunoonyereza ku kyapa ekyogerwako.
Ab'ebyokwerinda nga bali mu lukiiko

Ab'ebyokwerinda nga bali mu lukiiko

 
RCC Kamugisha asinzidde mu lukiiko luno n'alagira obutabaawo kintu kyonna kikolebwa ku ttaka okutudde omuzikiti okutuusa nga okunoonyereza kuwedde akakiiko k'ebyettaka kazuule nannyini kyapa omutuufu era n'agumya Abasiraamu nga bwewatali muntu yenna agenda kusenda muzikito gwabwe.
 
Mu ngeri y'emu RCC Kamugisha asabye Abasiraamu okukuuma emirembe nga okunyoonyereza kugenda mu maaso okulabaga tewabeerawo kulwanagana kwonna n'ategeeza nti ensonga zonna zijja kugonjoolwa mu mateeka.
 
Wakati mu Ssanyu Abasiraamu bo mu Kiwalimu nga bakulembeddwamu Sheik Jamiru Muwonge basiimye RCC Kamugisha olw'okusitukiramu n'ayingira mu nsonga z'Omuzikiti gwabwe n'ategeeza nti abadde mu kutya nti abatamanya ngamba bayinza okugesenda mu lukujukujju.
 
Abasiraamu beyamye mu maaso ga RCC Kamugisha nti baakugondera ebiragiro byonna byeyayisizza kyokka ne bamusaba okunoonyereza kwonna kukolebwa mu bwerufu basobole okufuna obwenkanya.