PULEZIDENTI Museveni asanyukidde kye yayise ‘amawanga amagatte’ agali mu disitulikiti y’e Kayunga olw’okuwaayo ku ttaka lyabwe okusobozesa okukola enguudo.
Yagambye nti ebitundu ebirala ab’e Kayunga babatwale ng’ekyokulabiriko kuba kye baakoze kya magezi kuba be bagenda okusinga okukifunamu mu luguudo olupya.
Bino Museveni yabyogeredde ku mukolo gw’okutema evvuunike okutandika okukola oluguudo olwa Kayuga- Bbaale - e Galiraaya ogwabadde e Ntenjeru ku kisaawe.
Pulezidenti Ng'atongoza Okukola Oluguudo E Kayunga.
Oluguudo luno lwa 87.6Km lwakwasiddwa kkampuni y’Abachina eya China Road and Bridge Corporation (CRBC) egenda okulukola ku buwumbi bwa ssente za Uganda 213 mu bbanga lya myaka ebiri wabula nga bagenda kusooka kukozesa ssente zaabwe ku ntandikwa ku magoba ga bitundu 10 ku 100.
Yagambye abantu nti okwagala okuliyirwa ku buwaayiro bw’ettaka obutono obuba bweyambisiddwa mu kukola enguudo kye kimu ku bisinze okuzingamya n’okulwawo okumalirirza enguudo ate nga be basinga okuganyulwamu kub ettaka lyabwe lirinnya ebbeeyi, bawona enfuufu, ssente ezisasaanyizibwa ku mafuta zikendeera ssaako n’okusobola okufuna obutale bw’ebyamaguzi obulungi.
Minisita w’ebyenguudo n’entambula, Gen. Katumba Wamala yagambye nti bayingiya ba minisitule ye be bagenda okubeera ba kalabaalala b’omulimu mu kifo ky’okupangisa kkampuni nga kino kigenda kukendeeza ku ssente
ezisasaanyizibwa.
Yagambye oluguudo lwakubeera lwa bugazi bwa ffuuti 30 nga kontulakita yasabiddwa okukola kkiromita bbiri eza kkolaasi ku nguudo ezimu ezidda munda singa wabaayo ekyetaagisa ng’amasomero oba amalwaliro.
Minisita omubeezi owebyensimbi, Amos Lugoloobi era omubaka wa Ntenjeru North yagambye oluguudo luno lubadde lututte emyaka egisoba mu 30 nga lulagaanyizibwa okukolebwa.