Minisitule ennyonnyodde lwaki bazzaayo bannansi ba Eritrea e Kenya

MINISITULE y'ensonga z'omunda mu ggwanga, ennyonnyodde lwaki baatikka bannansi ba Eritrea okubazza e Kenya , bwe baali bayingidde mu ggwanga mu bukyamu.

Minisitule ennyonnyodde lwaki bazzaayo bannansi ba Eritrea e Kenya
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kenya #Bannansi #Kuzzaayo #Kutikka

MINISITULE y'ensonga z'omunda mu ggwanga, ennyonnyodde lwaki baatikka bannansi ba Eritrea okubazza e Kenya , bwe baali bayingidde mu ggwanga mu bukyamu.

Bano 71 baayingirira mu kakubo akamu ku nsalo nga bava e Kenya nga tewali alina kiwandiiko kiboogerako.

Omwogezi wa minisitule y'ensonga z'omunda mu ggwanga Simon Mundeyi, ategeezezza nti, amateeka galagira omuntu ayingidde mu ggwanga mu bukyamu, okumutikka ne mumuzzaayo, nga mumuyisa mu kifo kyennyini we yayitira okuyingira.

Ayongeddeko nti ye nsonga lwaki, abantu bano, nabo, babayisa mu bifo gye baayitira, ne babaleka eyo nti kuba baali tebasobola kubamalirako ssente za muwi wa musolo kuba baali tebabamanyi.