Ab’e Busoga baabinuse

AB’E Busoga baanyumiddwa ekivvulu ekyatuumiddwa Ekitudha Konta Nkonte 2025. Kyabadde ku kisaawe ky’e Bugembe nga kyabaddemu abadigize abaavudde mu disitulikiti ezikola Busoga.

Spice Diana ng’abakuba emiziki mu kisaawe e Bugembe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AB’E Busoga baanyumiddwa ekivvulu ekyatuumiddwa Ekitudha Konta Nkonte 2025. Kyabadde ku kisaawe ky’e Bugembe nga kyabaddemu abadigize abaavudde mu disitulikiti ezikola Busoga.
Baasanyusiddwa abayimbi okusinga okwabadde Spice Diana, Gravity Omutujju, Chameleon, Pallaso ne Allien Skin. Abalala kwabaddeko Mary Bata, Mickie Wine, Ava Peace, Dax Vibes, Jowi Landa, Allien Skin, Catherine Kusasira, Haji Haruna Kitooke, Ronald Mayinja, Geoffrey Lutaaya ne Mukyala we Irene Namatovu, ssaako ne bakazannyirizzi Madrat ne Chico, Maulana ne Reign n’abalala. Abayimbi ab’omu Busoga kwabaddeko Kadabada, Cool Demus, Top K, Menton Ras, Uncle Hoe, Gazampa, Munabai Nsolonkabwe, Tina Baiby, Sandra Sanjay ne Isa K.
Chameleon eyajjidde mu kiteteeyi ky’ebibomboola ebyefaanaanyiriza eby’amagye, yakutte bangi omubabiro ne bamusaba abongeremu anko. Abaagalana abaakooye baatudde ku
busubi mu kisaawe ne beewamba-atira olw’empewo ennyingi eyabadde ebafuuwa.