Ddereeva ne kondakita wa ttakisi bakwatiddwa oluvannyuma lw'akatambi akaalabikidde ku tiktok ng'omusajja agituddeko waggulu ku ntebe ey’omuti, anywa bbiya.
Kigambibwa nti takisi eno nnamba UAZ 910B yabadde eyita mu bitundu by'e Nsambya mu Kampala ng'omusajja ali ku katanda kaayo waggulu, agenda yeeminsa bbiya mu ccupa ng'ataddewo n'akameeza kw'awummuliza.
Oluvannyuma lw'akatambi okusaasaanira ku mikutu egy'enjawulo, nga yeeyambisa CCTV kkamera, poliisi esobodde okufuna emmotoka eyo era ddereeva ne kondakita waayo ne babaggalira ku poliisi y'e Kabalagala.
Kigambibwa nti omusajja oyo waggulu ku ttakisi, yabadde anoonya kontenti ow’okussa ku mukutu gwe ogwa tiktok era nga yabasasudde 20,000/.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti bagguddwako omusango gw'okusaabaliza omuntu mu kifo ekyobulabe era nga ne tiktok naye bamunoonya bamuvunaane okussa obulamu bwe mu katyabaga.