RCC wa Nakawa ayisizza ebiragiro ebikakali eri abeebibanda by'emmotoka mu Nakawa

OMUBAKA wa Pulezidenti e Nakawa Sheik Kassim Kamugisha ayisizza ebiragiro ebikakali ku basuuuzi b'emmotoka mu Nakawa.

RCC wa Nakawa ayisizza ebiragiro ebikakali eri abeebibanda by'emmotoka mu Nakawa
NewVision Reporter
@NewVision
Kino kidiridde bannanyini bibanda ebitunda mu Nakawa okwekubira enduulu ku bubbi n'obumenyi bw'amateeka ebyeyongedde ensangi zino nga bagamba nti emmotoka zaabwe zibbibwa naddala mu budde obw'ekiro.
 
Embeera eno y'ewalirizza RCC w'e Nakawa Sheik Kassim Kamugisha okuyita olukiiko lw'eby'okwerinda olwetabiddwamu abasuubuzi b'emmotoka bonna mu Nakawa n'abalagira okwewandiisa.
 
RCC agambye nti abasuubuzi b'e Mmotoka bonna bateekwa okwewandiisa kiyambeko okulwanyisa ebikolwa eby'obubbi ko n'effujjo.
 
Abamu ku batunda mmotoka mu bibanda

Abamu ku batunda mmotoka mu bibanda

 
Mu ngeri y'emu abalabudde n'okukomya okusimba emmotoka zaabwe ku kkubo n'ategeeza nti kye kisinze okuvaako jjaamu ko n'obubenje obweyongedde ku luguudo lwa Jinja Road. 
 
Wano abasuubuzi b'emmotoka nga bakulembeddwamu Omugagga wa Success Motors, Yasin Katwere, balaajanidde RCC ku babbi abababbira emmotoka zaabwe naddala ekiro ne bamusaba abongere ku bukuumi.
 
Ye aduumira poliisi y'ebidduka ku Jinja Road, Emmy Nuwagira asinzidde eno n'alabula bamakanika abakanikira emmotoka ku makubo nti baakubakwata. 

Login to begin your journey to our premium content