WABADDEWO akasattiro, omusibe abadde atwaliddwa ku ffaamu okulima ne banne, bw'agudde wansi n'afa.
Bino, bibadde ku Kata Farm mu ggombolola y'e Bunabutye mu disitulikiti y'e Bulambuli , Omusibe Alex Walimbwa 22 amanyiddwa nga Magolo okuva mu kkomera lya gavumenti e Mutufu ,bw'afudde ng'ali ne banne abalala 60, nga bakola ku ffaamu.
Kitegeezeddwa nti Walimbwa abadde mu kukola ne banne nga bakuumibwa abaserikale b'amakomera okuli Edward Orionzi, atalantuse n'agwa n'azirika era bagenze okumuyoolayoola bamutwale mu kalwaliro ka Bulambuli Health center , n'afiira mu kkubo.
Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, agambye nti batandise okunoonyereza ku ngeri omusibe ono abadde ku misango gy'okubba ente, gy'afuddemu era nga bangi, baggyiddwako sitatimenti era omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika.