AKAKIIKO k’abanamateeka okuva mu maka g’obwapulezidenti kalabudde abantu abeesomye okusenda ebyalo bina kyokka nga kkooti yamala dda okusala omusango gw’ettaka lino.
Kino kibadde kitadde abatuuze ku bunkeke nga batya nti waliwo abagenda okubasenda mu nnaku enkulu.
Abantu abali ku bunkeke bali ku byalo okuli Kavule, Mwereerwe Ane B, Kyambizzi nga bino bisangibwa mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana nga bano okutuuka okuwandiikira Pulezidenti Museveni ebbaluwa kyava ku batuuze abali ku square mile 5 okumulaajanira abataase ku bantu abaagala okutwala ettaka nga beeyita nti be bannannyini.
Wano ebbaluwa abatuuze nga bakulembeddwa Joachi Kazibwe gye bawandiikira Pulezident Museveni, kyaddaazi yabazzeemu era n’abasindikira bannamateeka okuva mu state house nga bakulembedwa Annet Bakunzi n’akulira ebyettaka mu poliisi James Kusemererwa.
Bano beegattiddwako DPC w’e Matugga Yudaaya Mugoya era olukiiko lutudde ku ttaka erikaayanibwa. Kazibwe agambye nti yawandiika ebbaluwa eno kubanga waaliwo okutiisibwatisibwa eri abantu abali ku ttaka lino kyokka nga ensonga zonna zaali mu kkooti enkulu etaawuluza enkaayana z’ettaka.
Omulamuzi Alexander Nkonge Lugandya yawa ensala ye 2023 December kyokka ne batajulira. Kazibwe agambye nti abatuuze bali ku bunkeke kuba ebyalo ebibaliraanye baabisenda awatali wadde kuwuliriza muntu yenna.
Kazibwe era yagambye nti waliwo abantu abeeyiita nti baffamire ya Yakobo Kalibbala Bunya nga bagamba nti balinawo ettaka wano kyokka nga tebabamanyi nga bano babonyaabonyezeddwa ebbanga ddene ekyamuvirako okugenda ku kkooti era ne bawangula omusango nga ettaka lyonna lyaali lya mugenzi Apollo Kagwa Bulemye eyafa mu 1927.
Kyokka abagambibwa okubeera nti bannannyini ttaka lino okuli Okello Joshua obwedda ayogera nga abantu bamuvvoola era ne bamubuuza ayogere ebikwata ku ttaka lino ng’atamwatamwa.
Bo bannamateeka abavudde mu statehouse bavuddeyo nga beebuuza Okello ky’alwanirira mu kaseera kano era ne bamulabula obutalinnya ku ttaka lino kuba bo bagoberera kkooti nga ssinga waliwo obutali bumativu baalina okuddayo mu kooti.
James Kusemererwa okuva mu kitongole ky’ettaka ekya poliisi alabudde Okello obutagezaako kuddamu kulinya ku ttaka lino kuba bajja kubakwata. Bo abatuuze boogedde bwe bati ku nsonga zino