Abawagizi b'abakwatidde NUP bendera ku ky'obwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu batandise okweyiwa ku kisaawe ky’e Namungoona okuliraana oluguudo lwa Northern bypass wakati mu mukulindirira omuntu wabwe mussanyu.

Omuwagiz wa Kyagulanyi ng'akutte ekipande ekiriko omukulembeze we.
Abatunda ebintu eby’enjawulo okuli obukoofiira emijoozi, bendera y’eggwanga,vuvuzera, ebyokulya n'ebyokunywa nabo beeyive mu bungi.
Ku kkubo abaserikale ba poliisi n'amagye kwebali okutangira abo abayinza okukolerako efujjo wamu n'okusimbako ebidduka byabwe ku mabbali g’ekkubo.

Omukyala e Namung'oona ng'awanise bendera ya Uganda
Wano Kyagulanyi w’agenda okukuba olukung’aana lwe olw'okubiri bw’anaabeera amalirizza olukung’aana olusoose mu Lubaga y'obukiikaddyo ku kisaawe ky’e Wankulukuku gy'alaze oluvannyuma lw'ensisinkano ye ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga gye yasookedde.
Abayimbi abaakatandika ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n'okusanyusa abawagizi ba Kyagulanyi.

Bizinensi z'okutunda amasaati, enkoofiira ne bendera zaatandise dda okukola