SSENTEBE wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, yeebazizza omuwanika wa NRM mu ggwanga Barbara Nekesa Oundo, gwagambye nti,afuddeyo nyo okutuukiriza ebyetaagisa mu kunoonya akalulu ka pulezidenti Museveni ne ba nna NRM bonna, era ebintu bitambula bulungi kuba ebikozesebwa baabifuna mu budde.
Majambere agamba nti, mu nkungaana zaabwe zonna zebakola okunoonyeza pulezidenti Museveni ne ba nna NRM akalulu, ebikozesebwa baabifuna mu budde okuva ew'okuwanika Nekesa era enkungaana neezitambula bulungi, kyagambye nti kibayambye nyo okwongera obuwagizi bwa NRM mu Kampala naddala Lubaga gyatwala kuba akalulu bakanoonya teri kyebajula
Naagamba nti, Nekesa buli webamutuukirako aba mwetegefu okuyamba, era akola emisana n'ekiro awatali kwekkaanya, naamwebaza olw'omutima ogwo ogulumirirwa NRM n'okwagala ennyo omulimu gwe, ekireetedde enkungaana zaabwe okutambula obulungi, kubanga nebwebamutuukako ku ssaawa munaana ez'ekiro aba mwetegefu okukola, kyagambye nti ekyo kiraga omukulembeze ow'emjawulo Nekesa kyali, asobola okukola emisana n'ekiro olw'ekibiina kye.

Majembere ng'awaayo ebipande bwa Pulezidenti Museveni
Naagamba nti NRM singa efuna abantu nga Nekesa abawera, NRM yaakuddamu obuwanguzi obw'amaanyi ennyo olw'empeereza ennungi Nekesa gyabatuusizzaako mu kiseera kino.
Abadde asisinkanye ba nna Lubaga ab'enjawulo mu nkola y'okuwenja akalulu ka NRM eya Nju ku nju gyalimu, n'ategeeza nti ku Luno pulezidenti Museveni agenda kuwangulira waggulu e Lubaga ekibadde kikyaludde okubaawo mu kulonda okuzze kubaawo olw'empeereza ennungi gyebafunye.
Asabye ba nna Lubaga obutatuula, kubanga ebikozesebwa byonna omuli ebipande by’okutimba na byonna ebyetaagisa weebiri, baanoonye akalulu ka pulezidenti Museveni ppaka ku buwanguzi, nti era ku Luno Lubaga yaakulabikira ku lukalala lw'ebitundu pulezidenti Museveni baagenda okwebaza olw'okumuwa akalulu akangi ng'amaze okuwangula.