POLIISI eyigga Taata agambibwa okusobya ku mwana we ow'emyaka 4.
Ayiggibwa, ye Emmanuel Mangona, omutuuze w'e Mbuya mu Nakawa municipality mu Kampala, agambibwa okubeera ng'abadde asobya ku mwana ono.
Kitegeezeddwa nti nnyina w'omwana, yagenda ku kyeyo e Saudi Arabia, yamulekera kitaawe agambibwa nti abadde asula naye mu buliri bumu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala , Recheal Kawala, agambye nti, omwana, yasoose kuwulira bulumi , n'ategeezaako aboomuliraano , nabo abaamututte mu ddwaaliro era n'alonkoma kitaawe .
Agasseeko nti omuyiggo gwa Mangona, gugenda mu maaso okuzuula ekituufu.