Amawulire

Pulezidenti Museveni akungubagidde Moses Karangwa n'obukadde 100

OKUZIIKA abadde ssentebe wa NRM e Kayunga Moses Karangwa Kaliisa era omuwabuzi wa pulezidenti mu nsonga ez'enjawulo kusitudde ebikonge

Okuziika omugenzi Karangwa
By: Saul Wokulira, Journalist @New Vision

OKUZIIKA abadde ssentebe wa NRM e Kayunga Moses Karangwa Kaliisa era omuwabuzi wa pulezidenti mu nsonga ez'enjawulo kusitudde ebikonge.

Omukungubazi omukulu ye minisita w'ensonga z'obwapulezidenti Milly Babirye Babalanda era nga yeetisse amabugo ga bukadde 100 okuva mu ofiisi ya pulezidenti.

Entaana z'omugenzi Moses Karangwa

Entaana z'omugenzi Moses Karangwa

Pulezidenti Museveni mu bubaka bwe agambye nti walumbe anyaze NRM omuwagizi atazzikawo era nga mukwano gwe nfa nfe.

Abalala ye Ssabawandiisi wa NRM Richard Todwong akulembedde eggwandiisizo lyonna era ayogedde ku Karangwa nga omuntu akoleredde ennyo ekibiina.

Todwong, anyumirizza abakungubazi nga omugenzi lweyamutwala ku ky'emisana wiiki bbiri eziyise gyeyamubuulidde pulezidenti

Okuziika omugenzi Karangwa

Okuziika omugenzi Karangwa

Abalala kubaddeko abasuubuzi, Bannamakolero, Baminisita, n'abakulu mu gavumenti, Bassentebe ba disitulikiti n'abakulembeze ku lukiiko lw'ekibiina olwa CEC.

Muto w'omugenzi Augustine Tumwine, ayogedde ku mukulu we nti abadde n'ennono nti ebitongole bibiri tebisobya mu maaso okuli Eklezia n'ekibiina kye ekya NRM era nti buli amwekiikamu nga alwanirira ebitongole ebyo wakiri nga amukuba ekkuuli.

Jackline Birungi Kobusingye ku lw'abaana b'omugenzi boogedde ku kitaabwe engeri gyeyabagunjula mu bukambwe ate n'omukwano gw'abalaze.

Okuziika omugenzi Karangwa

Okuziika omugenzi Karangwa

Ofiisi ya Gen. Salim Saleh ekiikiriddwa Eng. Kibuuka Ronald era nga omugenzi okufuna akabenje yali ava kusisinkana Gen. Saleh e Kapeeka, atuusizza obubaka obw'okusaasira era n'abuulira aba famire nti Karangwa aleseewo ettaka obwaguuga mu Amuru kw'abadde ateekateeka okulima emwanyi.

Omubirizi gw'omugenzi oluvanyuma guziikiddwa mu nyumba ye ey'olubeerera ku ssaawa 12:30 ez'akawungeezi

Tags: