Amawulire

Pulezidenti Museveni agguddewo olukung'aana lw'ebyombulambuzi n'akubiriza abantu okwekuuma ekirwadde kya Ebola

OLUKUNGANA lwe byobulambuzi mu Gwanga olumanyiddwa nga Uganda Tourism Expo ( POATE) lutandise era nga lwakumala ennaku ssatu ku speke Resort Munyonyo   

Pulezidenti Museveni ng'atuuka e Munyonyo ku mukolo gw'ebyobulambuzi
By: Godfrey Ssempijja, Journalist @New Vision

OLUKUNGANA lwe byobulambuzi mu Gwanga olumanyiddwa nga Uganda Tourism Expo ( POATE) lutandise era nga lwakumala ennaku ssatu ku speke Resort Munyonyo .

Luno lwebatidwaako abakungu okuva mu Kitongole kye byobulambuzi nga bakulembedwamu Hon Tom Butime minister , Hon Martin Mugarra , Amyuuka akulira ekisaawe ky'ennyonyi Olive Lumonya , Akulira Uganda Tourism board Juliana Kagwa n'abalala bangi nga luno lwebidwaako abantu okuva mu mawanga 40.

Pulezidenti Museveni ng'ali n'abakulembeze b'ennono e Munyonyo

Pulezidenti Museveni ng'ali n'abakulembeze b'ennono e Munyonyo

Juliana Kaggwa akulira UTB agambye nti omukulembeze we Gwanga okwetaba mu lukungana lwa POATE kiraga nti abakiriza okutambuza ebyobulambuzi mu Gwanga lino kubanga akimanyi yemu kungeri yokuyamba okulwanyisa obwaavu mugwanga  okuyita mu balambuzi abayingira mugwanga nebaleeta ensimbi .

Ono agambye nti balina abantu okuva mu Brazil , Portugal , Japan n'awalala nga bano bakuyamba okwogera ku kkula lya Africa munsi zaabwe kiyambe okuleeta abalambuzi bangi 

Omukulembeze we Gwanga Yoweri Kaguta Museveni mu kuggulawo olukung'aana luno asoose kusomesa abantu ku kirwadde Kya Ebola n'agamba nti kirwadde kyangu kyakulwanyisa okusinga COVID 19 .

Ono agambye nti Uganda yafiirwa abantu abatasuka 200 ekitegeeza nti Uganda yamanyi nnyo mukulwanyisa endwadde .

Wano wasinzidde nakubiriza abantu okukoma okukwata mungalo kubanga kiviirako endwadde okwongera okusasana  naye ate singa ekirwadde Kya Ebola kumanyibwa mangu kyangu kyakujjanjaba .

Agenze mu maaso n'agamba nti omuntu omu ayafa olwa Ebola mu Uganda naye nga yava Congo ate omulala omu ali mu Dwaliro , alagidde okwekebejja abantu abayingira mu Gwanga ku boarder era nti abatunda mu butale ku boarder balina okukoma okukola kubanga kyongera okusasanya Ebola .

Mukwogera ku byobulambuzi agambye nti abatumbula ebyobulambuzi balina okwongera okumanya nti Uganda yanjawuulo kunsi endala kubanga eliranye Equator  era nti teyegomba kubanga mugwanga ddala naye talina kyakola .

Pulezidenti Museveni ku mukolo gw'ebyobulambuzi e Munyonyo

Pulezidenti Museveni ku mukolo gw'ebyobulambuzi e Munyonyo

Agenze mu maaso n'agamba nti Uganda lye Gwanga elirina abantu abalungi mu ndabika , emere nungi , ebyenono kwosa ne ddembe . nolwekyo okwongera ku Uganda nga egwanga ebyobulambuzi kitegeeza bulamu bulungi  . 

Assembyeyo nga agamba nti abantu mu Uganda balungi nnyo mu byobulimi naye nga ekizibu kulima mere yakulya mukifo kyokulima emere yokulya nga we batunda  , wano wasinzidde nagamba nti abalambuzi abaze okwetaba mu POATE bakuyamba okubulira abantu abalala obulungi  Uganda bweliko .

Asinzidde wano nagamba mu kisanja ekipya ayagala abalambuzi okubawa Visa eze myaka wakiri 3 basobole okuyingira Uganda nga webagala nga webagenda era nti kino bakukyogerako .

Tags: